
Bya Shafic Miiro
Bulimu – Kyaggwe
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, asabye abavunaanyizibwa ku mbuga z’Ebika okuzikulaakulanya zituuke ku mutindo gw’omulembe guno.
Minisita okwogera bino abadde mu kulambula obutaka bw’Ekika kye Nnyange, e Bulimu mu Kyaggwe ku Lwokubiri.
Oweek. Wamala agamba nti emu ku nsonga ezigaana abazzukulu okujja mu mbuga ezo y’embeera mweziri era nga ezimu teziyooyootebwa kimala.
Minisita Wamala era asabye abakulembeze mu bika okufuba ennyo okuteekawo emirimu gy’enkulaakulana n’okuteekawo enkola eziyamba abazzukulu olwo basobole okwenyumiriza mu bika byabwe.
Ate Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba akuutidde Abaganda bonna okweyagalira n’okwenyumiriza mu bika byabwe kubanga bye biraga ensibuko y’Omuganda yenna era nga lwe lutindo olumutuusa ku kwesiima okwa nnamaddala.
Yeebazizza Omutaka Mbaziira Frank Kisaala olw’okufaayo okukola emirimu gy’ekika kye newankubadde nga mugonvu.

Omutaka Mbaziira ye akuutidde abazzukulu okwongera amaanyi mu mirimu gy’Ebika byabwe, era yeebazizza Minisita okulambula ebika, ono abalaze n’omuti ogw’ekijjukizo ogwasimbibwa mu kujaguza ameefuga ga Buganda nga 8/10/1962.
Omukolo gwetabiddwako Omumyuka Asooka owa Ssekiboobo Oweek. Ssenyonjo Moses Kayima, akuutidde abazadde okutambulanga n’abaana baabwe mu mikolo gy’ebika kibasobozese okumanya ebikwata ku bika n’obuwangwa bwabwe.
Omukolo gwetabiddwako Katikkiro wa Mbaziira Omulongo Kato Lutuuma Fenekansi, Omw. Ssekabembe Moses atwala ekitongole ky’obuwangwa e Kyaggwe, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abakulembeze b’ebifundikwa mu kika kye Nnyange.