
Bya Najeeb Nsubuga
Mirembe – Kyaggwe
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, alabudde abazzukulu abeerimbika mu bifundikwa by’obukulembeze ebitali byabwe okukikomya bunnambiro.
Okwogera bino, Minisita abadde mu kulambula obutaka bw’ekika kya Nakinsige ku lusozi Mirembe mu Kyaggwe.
Oweek. Wamala, akkaatirizza ennamula ya Ssaabasajja Kabaka ku bukulembeze bw’akasolya mu kika kya Nakinsige era nga nsala eyo mwe mwava obukulembeze obwa Omutaka Fred Mayega aliko olwaleero.
“Tusaana okugoberera amateeka n’ennono yaffe, omuntu bw’agenda mu kkooti ya Kisekwa n’ajulira ne mu mbuga ya Ssaalambwa n’eramula, omusango ne gumusinga, tewaba nsonga lwaki asigala yeerimbika mu bukulembeze bwa kika” Oweek. Wamala.
Minisita era asabye Omukubiriza w’Abataka, okukoma ku Bataka bonna abagenda mu mikolo egitegekebwa abazzukulu abeerimbika mu bifundikwa ebitali byabwe.
“Nnina ebintu ebimu bye nzize mpulira, nti abantu abo abeewagguze ate waliwo Abataka ababawagira era ne bagenda ne ku mikolo gye bategeka mu ngeri y’okubatongoza, nga bakimanyi bulungi nti si batuufu”.
Wamala ayongedde okukkaatiriza nti engeri yokka gye tusobola okusitula ebika byaffe okuva we biri kati okubiteeka ku ddaala eddala, tulina kusooka kunyweza bukulembeze ku mitendera gyonna mu nnono ne mu ntambuza y’emirimu.
Alaze nti abantu bonna abataataaganya obukulembeze obw’ennono n’ebifundikwa obumanyibbwa mu mateeka baziŋŋamya enkulaakulana y’ebika olw’okubisiba mu ntalo ezitaggwa.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine K. Mutumba, akubirizza abazzukulu bonna okufuba ennyo okunywerera ku nnono n’obuwangwa bwaffe ng’engeri yokka gye tujja okukuuma empisa ez’obuntubulamu ezigenda ziggwa mu bantu ensangi zino.
Omutaka Kyeyune Fred Mayega, omukulu w’ekika kya Nakinsige, yeebazizza nnyo Minisita ne Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, olw’okukyala ku butaka bwabwe. Yategeezezza ng’obukulembeze bw’ekika bwe butalina lutalo lwonna na bazzukulu baabwe era baaniriza buli omu.

Ekika kya Nakinsige wansi w’obukulembeze obwa Omutaka Kyeyune Fred Mayega, bwasobola okununula yiika 20 ez’obutaka eryali lyatundibwa abaali mu bukulembeze era nga basobodde okuteekako ennyumba bbiri ne pulojekiti y’obulimu n’obulunzi. Obutaka buliko ennyanja esuubirwa okukulaakulanyizibwa efuuke ekifo ky’obulambuzi ku mutendera gw’ensi yonna.
Enteekateeka Nnamulanda esuubirwa okugobererwa mu kukulaakulanya obutaka yayanjuddwa Hajj Abbas Kazibwe Musisi Nguvu, avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’ekika.
Mu 2006, Omutaka Kafuuma Musa Kalega yagenda mu kkooti ya Kisekwa okuvunaana Hajj Kassim Kyeyune, eyali Katikkiro w’ekika ne Omutaka George William Kyeyune, Owessiga lya Ssemmanda, mu musango KD/01/2006, ng’abavunaana okudibaga ennono y’obukulu bw’ekika. Kkooti yasala omusango guno mu 2009 ng’eraga nti Omutaka Kafuuma Musa Kalega yali mutuufu.
Kkooti yaddamu okuwulira omusango guno era n’eggumiza ensala yaayo mu 2014. Abawawaabirwa baajulira ewa Ssaabataka kyokka okujulira kwabwe n’akugoba mu 2016 n’akakasa ensala ya Kisekwa era n’alagira ekika okutuuza Kyeyune ow’ennono omutuufu.
Omumyuka wa Ssekiboobo Asooka, Oweek. Ssenyonjo Moses Kiyimba, nga y’akiikiridde Ssekiboobo, yasabye obukulembeze bw’ebika byaffe okuba abasaale mu kusomesa abazzukulu ensonga ezikwata ku buwangwa n’ennono zaffe n’okufubanga okuleeta n’okwagazisa abaana ensonga ezikwata ku bika byabwe nga bakyali bato.
Omukolo gwetabiddwako Katikkiro wa Kyeyune, Ssaalongo Ssekirembe Noah ne Omumyuka we Omw. Francis Mayega, atwala ekitongole ky’obuwangwa e Kyaggwe, Omw. Patrick Ssekabembe, Omwami wa Ggombolola Mutuba I, Nakisunga Omw. Bakulumpagi Henry, atwala ebyobuwangwa e Nakisunga Omw. Luyombya Godfrey, abakulembeze mu kika n’abaami ba Ssaabasajja Kabaka abalala ku mitendera egy’enjawulo.