
Bya Samuel Stuart Jjingo
Buddu
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala akubiriza abakulembeze b’Ebika okukola ennyo okukulakulaanya ebifo by’ennono okwongera okusikiriza abazzukulu okubyeyunira.
Obubaka buno abuwadde alambula Obutaka obw’enjawulo mu Buddu okuli ekya Ng’aali e Buzooba Buwunga, Engabi Ennyunga mu Bwende Kyesiiga n’Ekika ky’Ente e Mulema Kyesiiga mu Buddu ku Lwokuna.
Owek. Wamala abajjukiza emiramwa mu minisitule y’obuwangwa okuli okunyweza Ebika okuviira ddala ku bukulembeze mu bika nga kino kyekinyweza Nnamulondo, okukunga n’okwagazisa abazzukulu ensonga z’Ebika, okukuuma ettaka ly’Obutaka n’okukola emirimu egivaamu ensimbi ezinaabiyamba okweyimirizaawo.
Minisita alambuziddwa ekifo ky’e Kabaana mu nsozi e Kasana nga wano wewatuziibwa Omutaka w’Ekika kino Maweesano era kifo kyakijjukizo mu byafaayo bya Ng’aali.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala alambula kika kya Namungoona e Kasaka Buddu.

Ono era alambuziddwa omuti ogwasimbibwa Ssaabasajja mu 2019 bweyali akyaddeko ku mbuga eno naggulawo e Kiggwa ky’abazzukulu ba Kajjabuwongwa
Dr. Wamala yeebazizza nnyo abakulira Ebika bino abazimbye Embuga y’Ekika, ekifo ewakolerwa emikolo awamu n’ enkulaakulana endala.
Minisita abasomoozezza okuvaayo n’obuyiiya nga bayita mu bazukkulu Omutaka atandike ensawo y’ebyenjigiriza enasobozesa abazzukulu okusoma bakuguke basobole okuzimba Ebika kyabwe.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu ab’Obusolya Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba yeebaziza nnyo Oweek. Wamala olw’okusembeza Obwakabaka mu bika nga ayita mu kulambula emirimu egikoleddwayo n’okubazzamu esuubi ly’okusitula ebika okutambulira ku mulembe.
Omutaka Namwama abakubiriza okukuuma obuwangwa bwabwe kubanga kya kitiibwa nnyo mu nsi yonna nga kimanyiddwa nti Obwakabaka bulina ebika 56 nga Abayisirayiri bwebalina 12.
Omutaka Maweesano Deus Kyeyune Kukeera ategezeezza nti ekika kitandiise okutumbula emirimu egigenda okuzza ssente mu Kika nga okulunda enjuki mu kibira ky’e Kabaana, okulamba emiti awamu n’okunnyonyola emigaso gyagyo kisobole okusikiriza abalambuzi.
Omutaka asabye Obwakabaka okunoonya abakugu mu bika eby’enjawulo abakuliridde okubagyamu ebikusifu ebikwata ku bika byabwe bisobole okukuumibwa.
Waliwo akatabo akatongozeddwa nga kayitibwa Eddoboozi ly’Omutaka Maweesano nga kanyonyola ebikwatagana ku busibuko bw’ekika kino.
Katikkiro Richard Musajja Akaawa asabye Minisita abayambe abanjulire obwetaavu bw’ebika kyabwe mu lukiiko lw’ebyensimbi mu Bwakabaka kubanga balina ebisomooza ebiwerako.