
Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo alambudde abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo mu Ssaza Butambala era ato gozza obukulembeze bw’Abavubuka mu Ggombolola z’e Butambala.

Asabye abakulembeze okunnyikiza obuwereeza mu bavubuka e Butambala.Minisita alambudde abavubuka abyokya ebyuma e Kibibi, makanika wa Pikipiki eyatangikawo ekifo mwakizeseza n’abalala newankubadde aliko obulemu, e Ngando alambudde omubuvuka alima Emmwanyi n’ababakola obumooli. Baalambudde abasabye okwongera obukugu mu byebakola n’okusoma bafune n’ebbaluwa ezikakasa bye bakola. Wano era wasinzidde n’abasaba okukola nga bwe bwebatandikawo n’ebibiina mwebeegattira okwekulaakulanya.


Minisita oluvannyuma agguddewo empaka z’Omupiira gw’Eggombolola mu Ssaza Butambala era zitandise n’omupiira wakati wa Ngando ne Bulo ogugweredde mu maliri ga 1:1.
Mu lugendo luno, Minisita yawerekeddwako Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Omuk. Baker Ssejjengo, Omumyuka we, n’abakulembeze abalala, era baayaniriziddwa Katambala, Oweek. Sulaiman Magala, Hon. Rashidah Namboowa, n’abakulembeze b’Abavubuka mu ssaza abukulirwa Sheikh Musa Lubega, Ssentebe waabwe