
Bya Ssemakula John
Bulemeezi
Minisita w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okutumbula Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Sserwanga akubiriza abantu ba Kabaka okujjumbira olusiisira lw’ebyobulamu bamanye bwebayimiridde mu mbeera zabwe ez’obulamu.
Okusaba kuno Owek. Sserwanga akukoledde Wobulenzi mu Bulemeezi ku Lwokusatu bw’abadde aggulawo Olusiisira lw’ebyobulamu ng’ekimu ku bikujjuko ebikulembeddemu okukuza olunaku lw’Abavubuka mu Buganda nga 1 Decemba 2023.
Owek. Sserwanga era akubiriza Bannabulemeezi okukozesa omukisa guno okwejjanjaba n’okwekebeza endwadde bamanye webayimiridde.

Kino kiddiridde Ssaabasajja Kabaka okulagira Bannabulemeezi baweebwe obujjanjabi obw’obwerere ekintu ekitandise okukolebwa olwaleero nga wabaddewo okujanjaba endwadde ezenjawulo, okukebera akawuka akaleeta mukenenya n’endala saako okugaba omusaayi.
Owek. Sserwanga era yeebazizza nnyo bannamikago abakolaganye n’Obwakabaka okujjanjaba abantu ku bwereere.
Oluvannyuma Owek.Sserwanga alambuludde ku nteekateeka y’Okukuza olunaku lw’Abavubuka olugenda okubeerawo nga 1/12 omwaka guno e Bulemeezi.
Ssentebe wa Disitulikiti ye Luweero Erasto Kibirango ategeezezza nti Omutanda kyabakoledde kikulu nnyo era abantu baganyuddwamu byansusso.
Abamu ku bantu ba Kabaka abajjanjabiddwa okuva mu masaza Buluuli ne Bulemeezi bagamba nti bayambiddwa nnyo kubanga babadde bubi mu byobulamu ate n’Okumanya amateeka.