• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Minisita Ssekabembe atongozza empaka z’omupiira gw’Amasaza 2023, Busiro eggulawo ne Mawokota

Gambuuze by Gambuuze
May 30, 2023
in Agafa e Mengo, Ebyemizzanyo
0 0
0
Minisita Ssekabembe atongozza empaka z’omupiira gw’Amasaza 2023, Busiro eggulawo ne Mawokota
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu, Owek.  Henry Ssekabembe Kiberu atongozza empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka 2023.

Omukolo guno, Owek. Ssekabembe agukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nakakasa nti empaka zino zakuggulawo ku Lwomukaaga nga 24/ June /2023  nga Busiro ekyaaza Mawokota mu kisaawe e Wankulukuku.

Owek. Ssekabembe agamba nti emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya ate omupiira gutandike ku ssaawa 9 ez’olweggulo wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa mukenenya ng’ Abaami bebakutte omumuli.

Okusinziira ku Ssekabembe, tikeeti ez’olukale zaakugula omutwalo gumu ogwa silingi (10,000) ate abakungu bayingirire emitwalo 3 (30,000).  Ono agasseeko nti neku mulundi guno abavujirizi kuliko Airtel, Centenary Bank, UNAIDS, Majestic Brands, BBS ne CBS.

Ono asabye amasaza gonna okweteekateeka obulungi gasobole okwolesa omutindo oguli ku ddaala erya waggulu mu mipiira gyonna 104 egigenda okuzannyibwa kiyambe okwongera okutumbula obuganzi bw’empaka zino.

Owek. Ssekabembe agamba nti ku mulundi guno, empaka zino bagenda kuzitambuliza ku bintu bisatu okuli abantu, omutindo gw’ekikopo kino awamu n’okufuba okulaba nti bagaggyamu akasente wadde kino si kyekikulembedde.

Minisita Ssekabembe agumizza abantu ku ky’omupiira guno okubeera nti gugenda kusambirwa  Wankulukuku mu Kyaddondo nakakasa nti wadde kiri bwekiti naye Busiro esigadde yekyaaza Mawokota era ejja kufuna ebyo byonna ebiweebwa ttiimu ebeera ekyaaza.

Ssentebe w’ olukiiko olutegesi lw’empaka zino, Sulaiman Ssejjengo asabye  abantu okuvaayo mu bungi bawagire amasaza gabwe era bagayambeko mu by’ensimbi okusobola okufuna omutindo omulungi.

Kinajjukirwa nti Busiro yerina ekikopo ky’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okuwangula Buddu era  ttiimu ezigenda okuttunka ziri mu bibinja bisatu okuli; Bulange, Masengere ne Muganzirwazza ng’ekikopo kino kigenda kuba kizannyibwa omulundi gwa 19 bukya kitandika.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist