Bya Noah Kintu
Ssembabule
Minisita w’Obwakabaka ow’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, akuutidde abavubuka mu Buganda okukuuma ebyobugagga eby’ensibo ng’ettaka bwe baba baagala okuwangula olutalo lw’ebyenkulaakulana.
Bino Minisita Ssekabembe yabyogeredde Mawogola bwe yabadde abangula abavubuka ku nteekateeka nnamutayiika ey’okutumbula n’okukyusa embeera z’abavubuka mu bitundu bya Buganda. Nga bano baavudde mu ggombolola okuli; Mijwala, lugusuulu, Ntuusi, Mateete, Lwemiyaga, Lwebitakuli n’awalala abakungaanidde ku kitebe ky’essaza.
“Bwetubagamba nti muteekeddwa okukuuma ebyobugagga byammwe eby’ensibo bitandika na ttaka, kye babasomesezza nti abavubuka muyigire mu bibiina byammwe eby’obweggasi, mwe abavubuka ba Executive nebwemutandika mpola ne poloti yammwe eya 50 ku 100,”Minisita Ssekabembe bw’abasabye.
Yabakuutidde okukola ebibiina by’obwegassi era batereke akatono ke balina olwo babeeko pulojekiti ze basobola okusiga mu ensimbi olwo basobole okusikang’ana ku mukono bakulaakulane, kibayambe okukyusa obulamu bwabwe.
Abavubuka bano, Owek. Ssekabembe yabasabye balowooze nnyo ku biseera byabwe eby’omu maaso okusinga ebyo ebyayita, okwongera okukulaakulanya Buganda ne Uganda era bakole ebinene okusinga ebyo bajjajjaffe byebakola.
Owek. Ssekabembe yavumiridde ebikolwa abapoliisi bye bakoze ku beesimbyewo ku bwapulezidenti n’asaba bannansi bonna okwekubamu ttooci beebuuza bwe batuuka wano nga bannansi abasinga tebakyaswala era nga tebakyalina buntubulamu.
Ye atwala essaza lino, Muteesa Serwadda Muhammed, yasabye abavubuka okutwala omulanga gwa Minisita era bakolere wamu era bateeke amaanyi mu buli kye bakola.
Avunaanyizibwa ku kukunga abavubuka mu Buganda, Joseph Ssenkusu Balikuddembe yalaze abavubuka engeri gye basobola okuzimbamu okulembeze okuva mu byalo okutuuka ku ssaza, kibayambe okutambuza obulungi emirimu. Yabasabye era bateekewo enkolagana ennungi n’abakulembeze ku mitendera gyonna.
Sentebe w’abavubuka mu ssaza Mawogola, Mutebi Ronald, yalaze minisita ebibasoomooza okuli; ebbula ly’ensimbi n’agamba nti mu kiseera kino tebalina pulojekiti n’emu mwe baggya nsimbi nti era tebalina na misomo gibabangula kweyimirizaawo.