
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Okwewumuzaamu, Henry Ssekabembe Kiberu alambudde ku mutaka w’ekika ky’ Enkusu, Ssenkusu Sonja Peter Kiyindi namusaasira ku bulwadde obumuluma.
Mu kwogerako eri bannamawulire, Jjajja Senkusu Ssonja avumiridde nnyo ekikolwa ky’okwabizaawo olumbe kubanga mu Buganda kikolebwa ku bantu batono nnyo kyagamba nti buba butagoberera byabuwangwa n’ennono.
Wano Katikiro w’ekika ky’ Enkusu wasinzidde neeyebaza Obwakabaka bwa Buganda okubalowozaako era naawera nga bwebatagenda kukoowa kuweereza Beene.
Mu ngeri yeemu abazzukulu mu kika ky’Ennyonyi Enyange bakubirizidwa obutaddamu kumala gatuuma baana babwe linnya lya Mbazira kubanga kubeera kuvvoola kitiibwa kya Jjajjabwe owa Kasolya.

Bino bibadde ku mukolo gw’okwabya olumbe lw’omugenzi Dr Livingstone Mbaziira mu gombolola ye Bukunja mu disitulikiti ye Buikwe.
Akulira olunyiriri lwa Mbaziira, Ronald Ssenyonjo Kiwooma Magaaya wasinzidde wavudde nalambulira abazzukulu obukulu bw’erinnya Mbaziira era nabasaba okunyweza ennono y’Ekika.
Joshua Zziwa yaddidde omugenzi Dr. Livingstone Mbaziira mu bigere oluvannyuma lw’okufiira mu kabenje ne mukyalawe nga 3, ogw’omukaaga mu 2022.