
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minista w’ Abavubuka, Ebyemizaanyo, n’Okwewummuza mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Henry Sekabembe Kiberu, atongoza akakiiko, ka bantu 8, akagenda okukola enongosereza mu mateeka agaddukanya empaka za Masaza Cup 2023.
Omukolo guno minisita Ssekabembe akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Mmande bw’abadde ayogerako eri bannamawulire nakakasa nti kino kigendereddwamu okwongera ku mutindo gw’ekikopo kino.
Akakiiko akatongozeddwa kakulirwa Bainamani Bernard, amyukibwa Haruna Kyobe ate ng’omuwandiisi ye Saddam Sebuyira.
Kano era kaliko bammemba okuli; Festus Kirumira, Walakira Mukisa Andrew, Mwanje Dan, Lutaaya Joseph ne Zawedde Gladys.
Bw’abadde abanjula, Owek. Ssekabembe ategeezezza nti bano bakulambikibwa olukiiko oluddukanya empaka z’omupiira gw’Amasaza .
“Tubasuubira okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu mateeka naabo abakwatibwako era olukiiko luno lulina okulaba nti amateeka gaggyayo ebigendererwa ebyatandisa empaka zino. Nga bakola omulimu guno tubasuubira okwesigama ennyo ku nsonga Ssemasonga ez’Obwakabaka awamu n’enteekateeka Nnamutaayiika ekomekerezebwa,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Ono agasseeko nti obuweereza buno bugenda kumala wiiki 2 era nga butandikiddewo kuba omulimu omukulu gwakulongoosa ebyo ebiriwo.
Owek. Ssekabembe yeebazizza abaali ku lukiiko luno naye nebalinyisibwa mu madaala olw’omulimu amatendo gwebakola okutumbula empaka zino.
Ssentebe w’olukiiko luno, Bainamani Bernard ayanirizza abakiise abapya ku lukiiko luno era neyeebaza Beene olw’okusumuusa bannabwe bebabadde bakola nabo okudda ku mutendera oguddako.
“Omulimu guno bagutuwadde okugumala mu wiiki 2, tweyama okugumaliriza n’okukola obulungi nga bwetusuubirwa,” Bainamani bw’annyonnyodde.









