Bya Gladys Nanyombi
Bulange
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka, Henry Ssekabembe Kiberu, ategeezezza nga bwe beetaaga ssente empitirivu okutegeka emizannyo mu Buganda ate ezitaliiwo.
Ssekabembe yagambye nti buli mwaka Obwakabaka butegeka emizannyo egiwerako nga ku gino kubaako, emipiira gy’amasaza, ‘Volleyball’, emisinde, amaato n’emirala wabula nga ku murundi guno embeera y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ezibuwazizza ebintu era nga bagenda kutegekako mitono.
Minisita Ssekabambe yannyonnyodde nti olw’obuzibu bw’ensimbi ku mulundi guno bagenda kunokolayo emizannyo esatu gyokka nga gye bagenda okukola.
Bino Minisita yabyogeredde mu woofiisi ye ku Bulange e Mmengo bwe yabadde awayaamu n’olupapula lwa Gambuuze.
“Teebereza okutegeka omupira e Kabula nga tewagenda kubeera bawagizi mu kisaawe, weetaaga obukuumi obunaatangira abantu obutawaguza kuyingira kisaawe ekijja okwetaagisa ssente ennyingi ate ezitaliiwo.” Ssekabembe bwe yakkaatirizza.
Omukulembeze w’eggwanga bwe yabadde akkiriza eby’emizannyo ebizannyirwa mu bifo ng’ebisaawe yategeezezza nti basobola okuddamu okuzannya naye mu bisaawe temulina kubaamu bawagizi.
Era nga n’abazannyi balina okukeberwa Ssennyiga Corona buli luvannyuma lwa nnaku 14 ekintu bannabyamizannyo kye bagamba nti kya bbeeyi.
Minisita yalagidde abazannyi bonna abeetaba mu mizannyo egy’enjawulo egitegekebwa Obwakabaka okutandika okutendekebwa nga bwe basala amagezi okulumba engeri empaka zino nga ez’amasaza bwe zinaatambula.
“Tukyali mu kuteesa ku mpaka ezinaazanyibwa omwaka guno, osanga wiiki ejja tunaavaayo n’enteekateeka ku misinde mubunabyalo era mu bwangu akakiiko akavunaanyizibwa ku by’emizannyo mu Bwakabaka kajja kutuula okulaba bwe tunaagoberera ebiragiro bya COVID-19,” Ssekabembe bwe yagasseeko.
Gibadde giweze emyezi mukaaga miramba bukya Pulezidenti Museveni aggala eby’emizannyo ng’aziyiza abantu okukung’aana kibayambe okwetaasa ku Ssennyiga Corona.