Minisita w’Abavubuka Owek. Robert Serwanga asisinkanye abakulembeze ku Guild Council ya Makerere Business School abakulembeddwamu Guild President waabwe Nabwire Rose.

Abakulembeze bano baliko bye basabye Owek. Serwanga okugabanako nabo okumanya ku Buganda n’ebirala ebisobola okubayamba mu kutambuza obulungi obukulembeze bwabwe.
Owek. Serwanga bano abasabye okusooka okuteeka amaanyi ku nsonga enkulu ebatwala ku ssomero era basome bulungi bayite era bayige. Abakubirizza okutuukiriza ebibasuubirwamu ng’abakulembeze naddala nga bakola ku nsonga z’abo be bakulembera.
Minisita Serwanga ababuulidde ku ngeri ez’enjawulo Obwakabaka gye butambuzaamu emirimu gyabwo omuli okukola enteekateeka nnamutayiika, okutambulira ku kulungamizibwa kwa Kabaka, okunyweza ensonga Ssemasonga ettaano n’okukolera emirimu ku nnyingo ez’omulembe omuggya obuyiiya, obwerufu, obunyiikivu n’okukola n’okwagala.

Minisita Serwanga asabye abakulembeze bano okuwagirangana mu nsonga ez’enjawulo, okwelumirirwa, okuwabulagana n’okukolera awamu mu nsonga ez’enjawulo.









