Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone, Oweek. Robert Serwanga akunze abantu ba Buganda ne bannabitone bonna okweyiwa e Namboole nga Novemba 2, 2024 okwetaba ku fayinolo y’Amasaza nga Buddu eyambalagana ne Kyaggwe okunoonya Nnantameggwa w’empaka z’omwaka guno.
Okwogera bino Oweek. Serwanga abadde mu nsisinkano ne bannamawulire mu Bulange e Mengo ku Mmande ne yeebaza buli kinnoomu alina kyakoze mu mpaka z’omupiira gw’Amasaza omwaka guno okutuuka kati.
Minisita Serwanga ategeezeza nti wajja kubaayo emipiira 2 ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu ogunaasambibwa ku Ssaawa 5 ez’okumakya ate ogw’akamalirizo guzanyibwe ku ssaawa mwenda ez’emisana. Akubirizza abawagizi okuva mu Masaza gonna abagenda okujja e Namboole okukuuma empisa ku kkubo n’okuvuga obulungi kubanga Ssaabasajja Kabaka abantu be abaagala balamu.
Emipiira 2; Kyaddondo ezannya Buweekula ne Buddu ng’ezannya Kyaggwe mu gw’okusalawo ani Nnantameggwa w’empaka z’Omwaka guno ez’omulundi ogwa 20, era okuyingira kujja kubeera ku; 20,000/= 50,000/= ne 100,000/=