
Bya Shafik Miiro
Kawanda – Kyaddondo
Minisita w’ Ebyemizannyo, Abavubuka n’ Ebitone, Owek. Robert Sserwanga agguddewo empaka z’Emizannyo gy’Amasomero 2025 eza Buganda mu butongole.
Empaka zino ziyindidde ku ssomero lya Kawanda SS era zitandise leero ku Lwokuna.
Minisita Serwanga asinzidde wano ne yeabaza abakulira amasomero olw’okuwa abaana baabwe omukisa okutumbula ebitone naddala mu byemizannyo okusukka kw’ebyo bye basoma mu kibiina.
Mu ngeri y’emu asabye abazadde okuwagira abaana baabwe okukuza ebitone bye balina nga babagulira ebikozesebwa mu byemizannyo nga bwe bakikola ne mu byomukibiina. Annyonnyodde nti ebitone bigatta abaana ne bayiga okukolera awamu ne buli omu okulumirirwa omulala.

Owek. Serwanga ategeezezza nti waliwo okugenda mu maaso mu bujjumbize mu mpaka zino, ng’omwaka oguwedde amasomero 81 ge gazeetabamu ate ku luno gali 92, naakakasa nti empaka zino olw’okuba ze zisooka ku ‘Calendar’ y’emizannyo gy’amasomero mu Uganda, kiwa omukisa abazwetabamu okuvuganya obulungi mu mpaka endala.
Atenderezza omutindo ogw’oleseddwa bonna abeetabyemu era ayagaliza ttiimu ezinabeera ez’omukisa era ezinaayolesa omutindo okusinga ku ndala okuwangula mu mizannyo egy’enjawulo.
Emizannyo ettaano (5) gye gizanyiddwa mu mpaka z’omwaka guno omuli; omupiira ogw’ebigere, okubaka, volleyball, handball ne basketball. Empaka zaatandika nga 12 Mugulansigo era zijja kukomekkerezebwa ku Ssande nga 16 Mugulansigo 2025.
