Bya Ssemakula John
Mbarara
Omulamuzi wa kkooti ento e Ntungamo Nasifah Namayanja, asindise Minisita omubeezi ow’abakozi n’amakolero Mwesigwa Rukutuna, mu kkomera lye Kakiika ku alimanda ku misango gw’okugezaako okutta omuntu bwebabadde mu Kamyufu ka NRM.
Rukutana n’abakuumi be poliisi yabakutte ku Lwamukaaga era leero ku Mmande nebasimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento kusomerwa emisango egiwerako.
Omulamuzi Namayanja yategeezezza nti, “Mwesigwa Rukutana n’abalala abakyalya obutaala, mugambibwa okugezaako okutta Daniel Rweburingi ku kyalo Kagugu e Ntungamo Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ekikontana nakatundu nnamba 204 (a) ak’ etteeka lya ‘Penal Code’.
Rukutana era yavunaaniddwa n’emisango emirala okuli; ogw’okutuusa ebisago ku muntu wamu n’okutiisa abalala era n’okwonoona ebintu mu bugenderevu.
Ono yalagiddwa okutwalibwa mu kkomera okutuuka olunaku lw’enkya ku Lwokubiri.
Kinajjukirwa nti, oluvanyuma lw’okuwangulwa Naome Kabasharira mu Kamyufu ka NRM, Rukutana yatabuse nabaako bayombagana nabo era wano weyagidde emmundu ku mukuumi we nabaako omuntu gweyalumizza naddusibwa mu ddwaliro nga ali mu mbeera mbi.
Olwaleero ku Mmande Ssentebe w’ekibiina ki NRM era Pulezidenti Yoweri Kaguta yavuddeyo nategeeza nga abantu bonna abeetabye mukokola efujjo bwebagenda okukolwako.