• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Rukutana azziddwayo mu kkomera

Gambuuze by Gambuuze
September 8, 2020
in Amawulire
0 0
0
Minisita Rukutana azziddwayo mu kkomera
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Ntungamo

Minisita omubeezi ow’abakozi Mwesigwa Rukutana olwaleero azziddwayo mu kkomera okumala wiiki nnamba kisobozese okunoonyereza ku musango gw’okugezaako okutta bwebabadde mu Kamyufu k’ekibiina ki NRM okumalirizibwa obulungi.

Minisita Mwesigwa Rukutana

Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Rukutana oluvanyuma lw’okujja ku mukuumi we emmundu nayagala okukuba amasasi  e Rushenyi mu distulikiti ye Ntungamo bwebali beesimbyewo mu Kamyufu k’ekibiina.

Rukutana bwaleteddwa mu kkooti, bannamateeka be  nga bakulembeddwa Owen Mulangira nebasaba kkooti emukkirize yeyimirirwe.

Bannamateeka bano bategeezezza kkooti nga Rukutuna bwalina amaka agamanyiddwa  era n’omusango ogumuvunaanibwa gukkirizibwa okweyimirirwa.

Mulangira alaze abantu ababadde beetegese okweyimirira Rukutana okuli; eyali Minisita Jim Muhwezi, Omubaka wa Igara East Micheal Mawanda n’omusuubuzi Bob Kabonero okumweyimirira.

Oludda oluwaabi lutegeezezza nga  bwelukyetaaga wiiki 2 okunoonyereza era nga lutya nti singa Rukutana ayimbulwa ajja kutaataaganya okunoonyereza kwebaliko.

Kino Munnamateeka Mulangira akiwakanyizza nategeeza nti tewali bukakafu bulaga nti Rukutana ajja kutaataaganya obujjulizi.

Mulangira yagambye nti, “Omuwawaabirwa talina kuggyibwako ddembe lye okweyimirirwa awatali nsonga kubanga waliwo abaagala okumubonereza kino kijjawo omulamwa gw’okubeera nga ono ateeberezebwa.

Wabula Omulamuzi yategeezezza nga bwataddewo olwa  15/09/2020 okuwulira okusaba kwa Rukutana wadde tekitegerekese oba ono aziddwayo mu kkomera e Kakiika oba anaatwalibwa  Kitalya.

Kinajjukirwa nti ono avunaanibwa emisango okuli; okugezaako okutta omuntu, okutuusa ebisago ku muntu wamu n’okwonoona ebintu mu butongole.

Share this:

Tags: NRMNRM PrimariesNtungamo politics
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist