
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Maj. Gen (Rtd) Kahinda Otafiire avumiridde ekikolwa ky’omujaasi wa UPDF eyakubye omupoliisi wa Tulakifi essasi mu kugulu olw’okugezaako okusika emmotoka ye eyabadde ekoze akabenje ku Ssande ya wiiki ewedde.
Omupoliisi wa Tulafiki eyategeerekese nga Robert Mukebezi agamba nti oluvannyuma lw’emmotoka y’ekika kya Toyota Prado TX nnamba H4DF 1391 okwenyigira mu kabenje yagezezzaako okuyita emmotoka Kasiringi egitwale ku poliisi wabula ekyaddiridde kwabadde kukubwa ssasi mu kugulu.
Minisita Otafiire bw’abadde ayogera ku nsonga eno ategeezezza nti omujaasi eyakoze ekikolwa kino ne bw’aneekweka ludda wa bajja kumufuna era avunaanibwe n’alabula abo bonna abalina empisa ensiiwuufu nti tebalina kyanya mu ggye ly’eggwanga.
“Sigenda kwetonda ku lwa mujaasi amala gakuba bantu bw’atyo, tetuyinza kukkiriza bikolwa bwebiti mu magye gaffe,” Minisita Otafiire bw’agambye.
Minisita Otafiire agamba nti tewali nsonga yonna erina kwekwasibwa okukozesa obubi emmundu era ng’omu ku bannansiko ba National Resistance Army (NRA), era nga baalwana tebaagala ku bikolwa byonna bya ngeri eno.
Bino we bijjidde ng’ebitongole by’obwannakyewa ebiwerako awamu n’abakulu mu poliisi bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa ekikolwa kino era ne basaba amagye okukwata musajja waago ono wasobole okubaawo obwenkanya.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeeza bannamwulire ku Mmande nti ekikolwa kino kya bukambwe era ekitalaga bukugu ku mujaasi ono eyakikoze.
Okunoonyereza okwakakolebwa ku nsonga eno kulaga nti anoonyezebwa akola n’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftancy of Military Intelligence(CMI).
Omukutu guno Gambuuze Online gwakitegeddeko nti omupoliisi ono Mukebezi eggulo yakutuddwako okugulu kwe okusobola okutaasa obulamu kuba yavaamu omusaayi nga mungi ekyateeka obulamu bwe mu matigga.









