Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kukulondoola ebyenfuna by’eggwanga, Peter Ogwang alagidde abakozi ba gavumenti 6 mu disitulikiti y’e Bugiri bakwatibwe lwakukola mirimu gya gavumenti mu ngeri ya gadibe ngalye.
Ogwanga ategeezezza nti bano bafiiriza gavumenti obulindo bwa ssente olw’okwagala okwekkusa kyokka nga zibeera ziweereddwayo kuganyula bannansi abawerako ate ng’abalala tebasobola kulondoola mirimu ng’obuvunaanyizibwa bwabwe bwe bulambika.
Bino we bijjidde nga Minisita Ogwanga ayingira wiiki eyookubiri ng’amakanda agasimbye mu bitundu by’e Busoga okulaba embeera Pulojekiti za gavumenti mweziri wabula nga bye yaakazuula mu disitulikiti okuli Bugiri ne Namutumba byennyamiza.
Ono yeetondedde abatuuze ku bubbi bwa ssente z’omuwi w’omusolo mu kitundu kino naye n’abagumya okumanya nti gavumenti ekola buli ekisoboka okukendeeza ekizibu kino era wano w’asinzidde n’alagira abakozi ba gavumenti 6 bakwatibwe basobole okubitebya.
Ogwanga asuubizza okumaliriza omulimu gw’olambula Pulojekiti za gavumenti mu bitundu bya Busoga olwaleero n’oluvannyuma yeeyongereyo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Minisita abatuuze baloopedde Minisita ku mbeera mwe bali n’amannya g’abanene ba gavumenti mu kitundu kino abeezibika ssente ezaalina okukola emirimu.
Mu bakwatiddwa mulimu akulira poliisi y’e Lwemba James Kakaire ne bayinginiya ku mitendera egiwera okuli; Mugoya Samson, Ikaaba Fred, Isiko Kalifani, Kisamba Samuel ne Mariam Wanyanya nga kati bano bakuumirwa ku poliisi y’e Bugiri.