Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma atongoza bboodi ya Buganda Medical Bureau era nagisaba okulondoola eby’obujjanjabi mu malwaliro agatandikiddwawo Obwakabaka.
Omukolo bano kwebakubidde ebirayiro gubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era nebasuubiza okukola ennyo okukyusa eby’obulamu mu Buganda.
“Mulina omulimu munene okunoonyereza Medical Bureau buvunaanyizibwa bwaayo nebyetubasuubiramu naye ffe tuli mabega wammwe okulambika wetunaaba tusobodde. Naye twekakasa nti muli bakugu era si nsobi okuba nti mwazze ku lukiiko luno,” Owek. Nankindu bw’ategeezezza.
Owek. Nankindu annyonnyodde nti balina omulimu munene okunoonyereza ku by’ enzijjanjaba era bawe abantu ba Kabaka essuubi nga bamanya nti balina abantu abatuufu abasobola okubayamba.
Ono agasseeko nti Buganda etegeka okufuna eddwaliro mu buli Ssaza naye batandise ne Kalasa, so nga waliwo n’eddwaliro eddala e Nsangi eriri ku mutendera gwa Health so nga waliwo erigenda okubeera e Mityana, Mukungwe mu Buddu ne Nkokonjeru mu Kyaggwe.
Minisita Nankindu agamba nti bano balina obuvunaanyizibwa okulondoola emirimu mu malwaliro gano era bakakase nti buli kimu kitambula bulungi era ku mutindo nga beeyambise Tekinologiya.
Olukiiko luno luliko abantu 9 nga bano bakulirwa Dr. Jane Ruth Nassanga nga beeyamye okutuusa obuweereza obulungi ku bantu.
Abalala abatuula ku lukiiko luno kuliko; Dr. Abbas Mukyondwa Kabogo; Ddegeya Ssekyeru; Dr. Nicholas Mugagga; Betty Naluggya; Edward Kalyesuubula; Kalungi James Kamwanje; Dr. Muwanga Moses; Venantious; Bbaale Kirwana Bwanika, ne Esther Namatovu.