
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza addukidde mu kkooti enkulu etawuluza enkayana mu Kampala okuwakanya ekya Palamenti okumuggyamu obwesige nesemba agobwe kubwa Minisita gyebuvuddeko.
Namuganza nga ye mubaka wa Bukono, awaabidde Ssaabawolereza wa gavumenti ne Palamenti olw’obutamuwa mukisa kumuwuliriza bwebaali bateesa ku by’okumugoba.
“Palamenti yatuula nga January, 6, 2023 newagira alipoota y’akakiiko k’abantu 7 abateekebwawo oluvannyuma lw’okukizuula nti yali aweebudde Palamenti naye kino tekyakolebwa mu bwenkanya,” Namuganza bw’ategeezezza mu mpaaba ye.
Ono agamba nti alipoota y’ akakiiko awamu n’ababaka okulonda bamuggyemu obwesige byonna byakolebwa mu bukyamu ekikontana ne Ssemateeka awamu n’ennono y’obwenkanya.
“Alipoota byonna byeyazuula yabituukako nga gwebagoba taweereddwa mukisa ate ekyo kikyamu si kya bwenkanya,” Namuganza bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Namuganza, ababaka bana kwabo abatuula ku kakiiko akalina okumunoonyerezaako ate baali bateeka dda emikono gyabwe ku kiteeso ekyaleetebwa okumuggyamu obwesige.
Ono agamba nti teyaweebwa budde bumala kwetegeka kusobola kwanukula bimwogerwako nga alipoota eno tesobola kubeera ya bwenkanya.
Kati minisita Namuganza ayagala kkooti eyise ekiragiro ekisazaamu ebyazuulibwa nebyasalibwawo akakiiko awamu nebyakolebwa byonna okumugoba.
Namuganza era ayagala alipoota y’akakiiko akamunoonyerezaako ewandukululwe mu biwandiiko bya Palamenti era ekome ku Ssaabawolereza wa gavumenti awamu n’ekitongole kye okuteeka mu nkola eyo ebyasalibwawo Palamenti nga emugoba.









