
Bya Stephen Kulubasi
Minisita w’enkulaakulana y’abantu eby’enjigiriza, eby’obulamu era avunaanyizibwa ku Woofisi ya Nnaabagereka mu Bwakabaka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko akalaatidde abantu okwettanira okuwandiika ebitabo ku bintu eby’enjawulo okusobola okukuuma amagezi abalala bagayigireko . Minisita agambye nti bwino abeera wamakulu nnyo mu nsi era kirungi nnyo obutamusuulirira. Okwogera bino asinzidde ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange – Mengo ku mukolo gw’okujaguza olunaku lwa International Literacy Day olukuzibwa mu nsi yonna n’ekigendererwa eky’okujjukiza abantu omugaso gw’okusoma.
Mu ngeri yeemu Owek. Nakate akubirizza abantu okweyigiriza empisa y’okusoma ebitabo n’okugatta omutindo kukusoma nga bayiga ennimi ez’enjawulo kisobole okugaziya ku mikisa egy’okukolera mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Minisita Nakate wano wasinzidde neyeebaza Maaso moogi olw’okulengerera ewala obukulu bw’okusoma n’atandikawo amasomero n’amatendekero okugunjula eggwanga ery’enkya.

Omukolo gw’okukuza olunaku lwa International Literacy Day Obwakabaka bwalutegeze ku mulamwa okusobola okwegatta ku kitongole kya UNESCO n’ensi yonna okukuza olunaku luno era omukolo gwetabiddwako abayizi mu masomero n’amatendekero g’Obwakabaka ag’enjawulo era abayizi babanguddwa abakugu ab’enjawulo ng’omulamwa gubadde gwa kusoma n’okuwandiika.
Omukiise w’ekibiina ky’olulimi oluganda mu Lukiiko lwa Buganda Robert Nviiri ategeezeza abayizi nti okusoma lutindo oluyunga omuntu ku nkulaakulana era kusaanye okwettanirwa buli omu.
Ate ye Omubanguzi ku bintu eby’enjawulo, Ssali Damascus akubirizza abayizi okunyweza emisomo gyabwe kibasobozese okuba n’ebiseera by’omumaaso ebitangaavu. Ssali Damasacus avumiridde abantu abasuuliridde ennimi zabwe nga bazitwala nti za wansi.
.