Bya Ssemakula John
Ssentema – Busiro
Minisita w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku bulimi n’obutonde bw’ensi, Owek. Hajati Mariam Nkalubo Mayanja akubiriza abazadde n’abaddukanya amasomero okusiga mu baana empisa ya Bulungibwansi.
Obubaka buno Owek. Nkalubo abuweeredde ku mbuga ya Ssekabaka Kiyimba VI ng’eno amasomero gaayo n’abantu ab’enjawulo bakoze Bulungibwansi ku masiro gano ng’ebimu ku bikujjuko ebikulembera okujjukira Amatikkira ga Beene ag’emyaka 30.
Owek. Nkalubo era akuutidde abantu okunyweza empisa ez’obuntubulamu nga erimu ku makubo ag’okuyitamu okuteekateeka abantu n’abakulembeze abanaagasa Buganda ey’enkya.
Minisita era asabye avunaanyizibwa ku bifo by’ennono okwongera amaanyi mu kubikuuma bisigaze ekitiibwa kyabyo ate nokubitaasa okutwalibwa banakigwannyizi abeesomye okubimalawo.
Ye Omukwanaganya wa Bulungibwansi mu Buganda, Kitazze Dan annyonyodde nti enkola eya Bulungibwansi yakutambuzibwa nemu masomero okwongera okubagazisa enteekateeka z’Obwakabaka ennono n’obuwangwa bwabwe.
Abakuliddemu abayizi okwennyigira mu bulungibwansi bagamba nti kino bakikoze okusiga mu bayizi ensigo ey’obumu n’obukozi bakule nga bamanyi obukulu bw’okukolera awamu.
Minisita nga ali wamu n’abayizi b’amasomero gano Bano beeze ekifo kino, okuyoola ebisasiro n’okusaawa era wetukoledde eggulire lino ng’ekifo kyonna kiyooyoteddwa bulungi.
Amatikkira agomulundi guno Ssabasajja yasiima gayindire mu lubiri lwe e Mmengo nga gakukuzibwa ku Mmande eno.