Bya Gladys Nanyombi
Bulange Mmengo.
Minisita w’ebyobulimi n’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, asisinkanye abakungu b’obukulembeze bwa Adhola abazze okwebuuza ku ngeri Buganda gy’ekumyemu obutonde bw’ensi ate nekukulaakulana.

Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo era Minisita asinzidde wano n’asuubiza okunnyikiza enkolagana ya Buganda n’obukulembeze bwa Adhola.
Owek. Nkalubo Mayanja abasabye okutandikira ku kukuuma obutonde bw’ensi era beewale okutema emiti nga bagyokyamu amanda, ekintu ekivuddeko amataba agababonyaabonya eggwanga.
“Tugenda kutandika n’okuteekaawo omukago ogwawamu n’enkolagana ey’amaanyi ne bannaffe okuva mu bukulembeze bwa Adhola nga tutandikira ku butonde bw’ensi n’okulima. Tubayigirize engeri gye tulimamu ebirime byaffe okugeza emmwanyi nga tuzitabise wamu n’amatooke nabo batuyigirize engeri y’okulimamu akalo.” Minisita Nkalubo bw’ategeezezza.
Abakulu bano bakubaganyizza ebirowoozo era Minisita n’abalaga engeri gye basobola okukulaakulanyaamu ekitundu kyabwe nga bayita mu nkola ya bulungi bwansi.
Minisita ategeezezza nti ebimu ku bye bakkaanyizzaako bagenda kubiteeka mu kiwandiiko ekyawamu mu bbanga lya Ssabbiiti bbiri era n’abasuubiza okubalaga amakubo mwe bayinza okuggya ssente ezinaabayamba okukulaakulana.
“Tujja kukola ebintu bingi nga tuyita mu bulungibwansi n’okulima tulabe engeri gye tusakamu ssente nga tufuna obuyambi okuva mu gavumenti eyaawakati.” Owek. Mayanja bw’agambye.
Agasseeko nga enkolagana yaabwe bw’egenda okubeera eddoboozi eryawamu mu kulwanirira enkulaakulana n’okutumbula embeera z’abantu baabwe.
Ye minisita w’ebyobulimi n’obutonde bwensi mu bukulembeze bwa Adhola, Josephat Oketcho Chombo, alaze nga bwe basoomoozebwa ennyo ekizibu ky’amataba era ng’eno y’emu ku nsonga lwaki baddukidde mu Bwakabaka bwa Buganda bafune okuwabulwa.
“Amataba gatumalawo ng’ekizibu kino kiva ku kutema ebibira okwokyamu amanda okufunamu ssente, abavubuka abasinga tebaagala kwenyigira mu mirimu gya bulimi.” Minisita bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti entobazzi mu kitundu kyabwe zonna ziweddewo olw’abantu abazirimamu omuceere nga kuno bagattako n’ekizibu ky’ekibbattaka ekiri mu kitundu kyabwe nga kivuddeko n’okuyiwa omusaayi.
Asuubizza nti beetegefu okutwala okuwabulwa okubaweereddwa Buganda kubanga ebizibu ebisinga bye balina essaawa eno Obwakabaka bwabiyitamu.
Oketcho agambye nti obukulembeze bwabwe bulina entegeka z’okukola leediyo kibayambe okunnyikiza enjiri y’okwekulaakulanya n’okutumbula embeera z’abantu baabwe.
Ate ye omukugu wa minisitule y’ebyobulimu, Proscovia Vickman Nanyonjo, ategeezezza nti, bajja kuteekawo enteekateeka eyawamu ey’okusimba emiti mu bitundu bya Adhola, kiyambe okutaasa obutonde.
Mu nsisinkano eno, Minisita Oketcho yawerekeddwako abakulu ba Adhola okuli; Felix Okuye, Minista w’abavubuka mu Adhola David Ochenge, Minisita avunaanyizibwa ku by’ensimbi ne nkulaakulana n’abalala bangi.









