Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku by’Obulambuzi, Owek. David Kyewalabye Male asabye abagenda okutegeka empaka za Nnalulungi wa Buganda ez’omwaka guno okwewala okuteekamu ebintu ebiyinza okwonoona ekitiibwa kya Buganda.
Okusaba kuno Owek. Kyewalabye akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atongoza empaka z’omwaka 2023 ku Lwokuna.
“Tuteekwa okwewala okukoppa ebyava ebweru obukolokolo sirowooza nti kyangu nnyo okuyisa omwana omuwala owaffe Omuganda ku siteegi. Bali betukoppa ekikula kyabwe si kye kyaffe wano waliwo olugoye lw’otasobola kwambala noyita mu bantu nga ofananyeeko nga bali so nga bali akunyuuka natambula nagenda,” Owek. Kyewalabye bw’ategeezezza.
Owek. Male agamba nti mu butonde omuwala mu Buganda alina okwesabika naggumira ate ekitali mu bazungu n’awalala bwatyo nasaba obuwangwa n’ennono bireme kutyobooka mu mpaka zino.
Ye Ssenkulu wEkitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda Omuk. Albert Kasozi annyonyodde nti empaka zino lyerimu ku makubo Obwakabaka mwebuyita okutumbula eby’obulambuzi mu Buganda nga beeyambisa abaana abawala okutumbula ennono.
Ye Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda owa 2022, Nabulya Sydney Kavuma alambuludde obukulu bwempaka zino era agamba nti oluvanyuma lwokuzeetabamu obulamu bwe bwakyuka.
Empaka zino zetabwamu abawala abenjawulo nga zitandikira mu Masaza ga Ssaabasajja.