Bya Francis Ndugwa
Lwadda – Kyaddondo
Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’embiri era avunaanyizibwa ku bifo eby’enkizo, Amasiro, olulimi Oluganda, okunoonyereza n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male, agumizza ab’ekika ky’Empologoma nti baakukola buli ekisoboka okugonjoola endooliito eziri ku butaka bwabwe.
Bino Minisita Kyewalabye abyogeredde mu kulambula obutaka bwa ab’Empologoma gy’asisinkanidde Omutaka Ssebuganda Nnamuguzi awamu n’abamasiga n’aba Buganda Land Board (BLB), okuteesa ku ngeri ab’ekika kino gye basobola okufuna obwannannyini obwenkomeredde ku butaka bwabwe.
“Ng’Obwakabaka, bwe babeera nti bazzukulu ba Nnamuguzi tebateredde tetusobola naffe kutereera. Tuba tulina okujja okulaba bwe tuyamba ensonga eno nga tukolera wamu.” Minisita Kyewalabye bw’ategeezezza.
Owek. Kyewalabye asinzidde wano n’akowoola abantu abali ku mayiro eno okukuuma ekitiibwa ky’ettaka lino, kuba kizuuliddwa nti wabaddewo ababadde beesenza nga tebagenze mu bampologoma kufunayo lukusa wadde okutuukirira aba Buganda Land Board, n’asaba kino kikome.
Okusinziira ku Minisita Kyewalabye, bakkaanyizza n’Omutaka Nnamuguzi okulondayo abantu basatu bakwatagane nabo okwongera okuttaanya n’okulaba nti ensonga zigonjoolwa kuba zaatambulako era ne wabaawo okulamula okwakolebwa kyokka ne kirabika nti ab’Empologoma tebamatidde engeri gye zaakwatibwamu era bwebatyo ne basaba baddemu bawuliziganye.
Ssentebe w’olukiiko lw’abayima oluvunaanyzibwa ku by’obugagga by’ekika ky’Empologoma, Prof. Badru Kateregga, asinzidde ku butaka bwabwe e Lwadda n’ategeeza nti Minisita Kyewalabye Male abalambise bulungi ekibawadde akamwenyumwenyu. Agambye nti era balina essuubi nti Obutaka bwabwe bujja kutaasibwa kuba waliwo ababadde beebudamizza ku mayiro y’ekika.
“Tukimanyi bulungi nti mayiro yaffe naye tetuweebwanga. Noolwekyo tulina okugonjoola ensonga eno kuba Obutaka bwaffe buli ku ttaka era tulina essuubi nti ab’Empologoma bagenda kubeera n’Obutaka bwabwe, ku ttaka lyabwe wano e Lwadda we basibuka.” Prof. Kateregga bw’agambye.
Prof. Kateregga ategeezezza nti wabaddewo okusoomoozebwa kuba ettaka lyabwe lyali ddene naye lisengeddwako abantu awatali abagambako kumpi kuggwaawo nga tewali alirwanirira naye kati bafunye essuubi nti ekizibu kino kigenda kukolebwako.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu, Owek. Noah Kiyimba, Omutaka Kidimbo, Omutaka Kayiira, Omutaka Kyaddondo, Omuk. Bashir Kizito owa BLB, Omutaka Kireega, Katikkiro w’ekika, Hajj Yunuf Ntale, Ow’amawulire mu kika n’abalala.