Musasi waffe

Minisita wa Ssaabasajja Kabaka akola ku by’obuwangwa, ennono n’embiri, Oweek. David Kyewalabye Male alambudde ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba n’asiima omulimu ogukoleddwa ebitongole ebyenjawulo okugiddaabiriza.
Bwabaadde ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma lw’okulambula kuno, Kyewalabaye ategeezezza nti ennyanja eno yabyafaayo era eteekeddwa okukuumibwa obutiribiri.
“Nga minisitule tukwasaganye n’abo abeetoolodde ennyanja eno nga bagiganyulwamu era nga tulina bannaffe aba Pope Paul Memorial Hotel, ekitongole kya KCCA, Rotary Lake View, Eggwanika lya Buganda, n’ebitongole ebikuuma ddembe. Twagala okukulaakulanya ennyanja efuuke eky’obulambuzi, twagaala okuteekako obusaawe obutonotono, era twagala okugikuuma ng’ekyobutonde bwensi,” Kyewalabye bweyagambye.
Ennyanja eno yasimibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Daniel Basamula Mwanga n’ekigendererwa nti bwava mu Lubiri e Mmengo nga linnya eryato okumutwala e Munyonyo olwo nga agenda ku nnyanja Nalubaale. Naye omulimu teyasobola kugumaliriza olw’entalo mu Buganda.

“Eno y’ennyanja esinga obunene nga yasimibwa mikono. Tolina wosobola kugisanga walala. N’olwekyo kyabyafaayo kyetuteekeddwa okukuuma, kyabulambuzi kyamaanyi,” Kyewalabye bweyagambye.
Ono era yategeezezza nti bagezaako okwogera ne minisitule y’obyobulimi mu gavumenti ya wakati okulaba nga batandika okuteekamu ebyennyanja.

Oweek. Kyewalayabe era yasabye abantu bonna abeetoolodde ennyanja naddala aboolezaawo emmotoka okukikomya mu myezi ebiri kubanga kigyonoona.
“Simanyi oba waliyo alina essente ezisobola okudya mu nnyanja eno.”