Bya Musasi waffe
Olwaleero Minisita w’obuwangwa, obulambuzi n’embiri, Oweek. David Kyewalabye-Male akiikiridde Katikkiro ku mukolo gw’ okutuuza Ssekiboobo omuggya ogubadde ku mbuga enkulu ey’essaza Kyaggwe mu Ggulu e Mukono.
Kyewalabye ayambiddwako Oweek. Joseph Kawuki, minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu.
Omukolo gutandise n’okusiiga Ssekiboobo omuggya Elijah Bogere n’abamyuuka be David Kato Matovu n’Omulangira Rashid Kikulwe. Oluvannyuma bano bayingiziddwa mu kkakkalabizo ekkulu elya Ssekiboobo era Katikkiro n’abakwasa effumu n’engabo nabakubiriza okulwanirira Kabaka waabwe.
Kyewalabye agambye nti ba Ssekiboobo abazze bakulembera Kyaggwe babadde basajja bakozi era n’akubiriza Bogere okwongereza ku nnono eno.
Ssekiboobo ayambaziddwa olugoye lw’obwami era n’atuuzibwa mu ntebe. Kyewalabye era abakulembeddemu okukuba engoma ya Bannakyaggwe ‘Kagerekamu.’
Ssekiboobo eyawummula Oweek. Kigongo abaddewo wamu n’abakulembeze abalala Ku mitendera egyenjawulo