Musasi Waffe
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu muluka gwe Kavule Matugga, Ssaabawaali Gombe, bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe nebagula satifikeeti za mitwalo ana (400,000).
Bano bakulembeddwamu Mukyala Nakachwa Margaret atwala omuluka ogwo.
Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Noah Kiyimba yabatikkudde ettu lino.
Mu bubaka bwe, Kiyimba asabye abakyala okuteeka essira ku kusomesa abaana okusingira ddala abawala. Era abasabye okufaayo ku nkuza y’abaana kubanga bebasinga okumala obudde obungi n’abo.
“Tuteekeddwa okuteeka amanyi ku miti emito kubanga ebyo byebiseera by’eggwanga eby’omumaaso. Ensangi zino tukubiriza abavubuka abalowooleza mu by’okufuna amangu ng’okusiba obupapula bw’omupiira n’okulowooleza mu by’obwerere. Buganda okugizza ku ntikko tuteekeddwa kukola,” Kiyimba bweyagambye. Mu ngeri yeemu abasabye abantu okukuuma obutonde bwensi nga basimba emiti. Era babeere bayonjo beewale endwadde.
Yabakubirizza okwekebeza endwadde bamanye bwebayimiridde basobole okwejjanjjabisa naddala akawuka ka mukenenya.
Kululwe, Mukyala Nakachwa Margaret yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okumulengera namuwa obwami mu kitundu kye Kavule era n’asuubiza okukozesa obuvunaanyizibwa obwo okuleetawo enkulaakulana mu bantu beeyo naddala abakyala. Nakachwa akubirizza bakyala banne obuteenyooma, banyikire okukola basobole okusitula embeera zaabwe.