
Bya Francis Ndugwa
Masengere – Mmengo
Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza aba Equity Bank olw’okuvaayo nebawagira enteekateeka y’ Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka ey’omwaka guno.
Okusiima kuno Minisita Kitooke akukoledde mu Masengere ku Lwokuna bw’abadde akwasa abakungu ba bbanka eno emijoozi gya nsimbi ezisobye mu bukadde 5.
Minisita Kazibwe agambye nti kirungi aba Equity okusitukiramu mu nteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja era naategezeza nga bbanka eno bweluddewo mu kisaawe era abantu basaana okugiwagira.
Bano Owek. Kazibwe era abakubiriza okubunyisa obubaka obukwata ku mukenennya.
Aba Equity Bank nga bakulembeddwamu Muky. Claire Tumwesigye (Head of Marketing and Corporate Communication) ne Mw. George Kato (Head of Branch Businesses) baweze okwongera okuwagira enteekeeka z’Obwakabaka kubanga zino zigendereddwamu okusitula embeera z’obulamu bw’abantu mu Buganda.