
Bya Shafic Miiro
Kakeeka – Mmengo
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko alambudde abayizi abasoma abatendekebwa amasomo g’ebyemikono amampimpi ku Buganda Royal Institute okulaba bwebatambuza emirimu.
Okulambula kuno Minisita Nakate akukoze ku Mmande nga ayaniriziddwa Ssenkulu w’Ettendekero lino, Omuk. Joseph Balikuddembe Ssenkusu ne Mw. Ssuuna Luutu.
Bw’abadde alambula abayizi abayigiriziddwa eby’enviiri, eby’okwewunda, okutunga, abasomye enkozesa y’ebyuma bikalimagezi n’abalala, Owek. Nakate yeebazizza abaddukanya essomero lino olw’enteekateeka eno gyagambye nti ejja kuganyula nnyo abayizi bano.
Owek. Kikomeko akubiriza abantu bulijjo okukozesa emikisa nga gino okubaako ne bye bayiga, naddala emirimu egy’emikono basobole okugatta obukugu mwebyo byebakola.

Ye Ssenkulu Omuk. Balikuddembe yeebaziza nnyo Minisita olw’okubalambulako mu nteekateeka eno gye baatandika okuddiza abantu ba Ssaabasajja nga bweyabalagira wakati mu okujaguza emyaka 25 egya Buganda Royal Institute ng’eri mu kisaawe ky’ebyenjigiriza okwongera okukola ebyo ebisitula embeera z’abantu be.
Ono era asabye abafunye omukisa okutendekebwa obukugu obwenjawulo, okubukozesa obulungi omumuli Kabaka gw’akoleezezza guleme kuddirira.

Abayizi abeetabye mu kutendekebwa kuno okw’ennaku ekkumi beeyanziza nnyo Beene olw’okusiima n’abateerawo enteekateeka eno ne beebaaza ne Buganda Royal olw’okubabangula obulungi.
Balaze ebimu ku bye bayize mu kiseera kino ekitono ddala, era abamu batubuulidde nti baliko ne bwebatandise okufuna ssente mw’ebyo bye baakasoma.
Okusomesa amasomo amampimpi ag’ebyemikono kwatandika nga 8 omwezi guno era kukomekkerezebwa ku Lwokutaano luno nga 19.