
Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu w’Ebyenjigiriza ,Ebyobulamu ,n’Ensonga ezenjawulo mu woofisi ya Nnaabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko asabye abaddukannya amasomero g’Obwakabaka nga babangula abayizi mu Nnono n’Obuwangwa okusobola okunyweza empisa.
Obubaka buno Minisita Kikomeko abuwadde akwasibwa ebyavudde mu bigezo by’akamalirizo ebya 2023 ku mutendera gwa Siniya mu masomero g’Obwakabaka ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Owek. Nakate bano abeebazizza olw’ amaanyi gebataddemu okulaba nga abaana ba Kabaka bayita ebigezo era naasaba abayizi bano obutakoma ku byamu bitabo byokka wabula babasigemu empisa , ennono nobuwangwa bwabwe bafulume nga batuukiridde.

Ono era abawadde amagezi okwewala ebisoomozo n’okumanya ku mulamwa wabula bateme empenda okubigonjoola omwana wa Kabaka lwaggya okusoma obulungi.
Abakulu b’Amasomero nga bakuliddwa owa Lubiri High e Mmengo, Omuk. Immaculate Nampijja ategeezezza nti obumu nokukolaganira awamu byebibayambye okukola obulungi.
Abakulira amasomero era balambuludde ku bimu ku byebasuubira okwongeramu okulaba omutindo ebyenjigiriza mu masomero g’Obwakabaka gweyongera.
Ku masomero aganjudde ebyava mu bibuuzo bino kuliko Bbowa Vocational Secondary school, Lubiri High School ettabi erye Mmengo ne Buloba namasomero amalala.