Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’ Amawulire, n’Okukunga Abantu era Omuwogezi w’Embuga, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abantu bulijjo okukola n’obunyiikivu okusobola okukyuusa embeera zabwe basobole okulaakulana.
Obubaka buno abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Bannabuddu ne Bannakyaggwe oluwalo olusobye mu bukadde 41 kulwa Kamalabyonna.
Owek. Kazibwe bano abasabye okusigala nga bawulize eri Nnamulondo okusobola okwongera amaanyi mu kaweefube wokuzza Buganda ku ntikko nabo okulaakulana era bettanire enteekateeka z’Obwakabaka omuli Mmwaanyi Terimba, Ensiisira z’Ebyobulamu wamu n’endala.
Wano akubirizza abazadde okukuza abaana mu mpisa saako obuntu bulamu kibasobozesse okubeera ab’omugaso eri eggwanga lyabwe n’ensi yabwe.
Minisita Kazibwe abalabudde ku mayengo ag’enjawulo agalumba Obwakabaka naabasaba okumanya nti buvunaanyizibwa bwabuli ssekinoomu okukwasizaako Ssaabasajja okutwala Obwakabaka mu maaso.
Ono abaami ba Beene mubiti ebyenjawulo abakubiriza okukola nga tebeebalira okusobola okutuusa obuweereza eri abantu ba Buganda.
Omubaka wa Nakaseke Central mu Palamenti, Hon Allan Mayanja Sebunya yekkokodde ebikolwa ebikyamu ebisusse muggwanga, omuli obulyake n’obukenuzi, okutyobola eddembe ly’obuntu, nasaba Kamalabyonna okugatta eddoboozi lye ku kulwanyisa ebikolwa bino.
Oluwalo oluleeteddwa luvudde mu Ggombolola okuli eya Mutuba VI Zirobwe mu Kyaggwe, Mumyuka Nakifuma Kyagwe, Mutuba VIII Kikamulo Bulemeezi, Ssaabagabo Nsangi Busiro ne Mutuba XIII Kiseka Buddu abakiise embuga ku Lwokubiri.
omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze mubiti ebyenjawulo okuli omubaka wa Nakifuma Hon Fred Ssimbwa, abakiise ku disitulikiti ye Mukono, Mmeeya wa Nsangi Mathias Walukagga, Omumyuka wa Ppookino omuwummuze Iga Painento, abaana b’amasomero nabalala bangi.