
Bya Ssemakula John
Nakawa – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu ba Kabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke asabye abantu bulijjo okubeera abayiiya gyebakolera, abannyikuvu mu mirimu kubanga Obwakabaka bwagala bantu bakozi.
Okwogera bino abadde mu mpaka z’ olulimi Oluganda eziyindidde e Nakawa mu Katale ku Lwokuna.
Minisita Israel Kazibwe bw’abadde ayogerako eri abasuubuzi mu katale kano abasibiridde entanda okwongera abanyikivu n’obujjumbize mu mirimu era bakolere mu bwerufu bwebaba baagala okufunamu n’okugenda mu maaso.
Owek. Kitooke era akuutidde abazadde nabantu b’omutanda okwongera okwagazisa abantu olulimi oluganda olwo Buganda ejja kudda mu kifo kyaayo ne Uganda ekulaakulane.
Ono mu ngeri eno yeebazizza Sipiika wa Nakawa Godfrey Luyombya olw’okutegeka empaka zino ezaatuumiddwa Bwongo ku Bwongo okusobola okuzuula ebitone mu basuubuzi abakolera mu katale kano awamu n’okwongera okubaagazisa olulimi Oluganda.

Bano okubbinkana kubadde mu biwayi byabwe okusinziira ku bintu byebatunda era nga batandika bali 21 nga bazze bakongoka okutuuka lwebasigadde abantu 7 era nga enteekateeka zino zibadde zikuliddwamu Lumanyika Mamba Tefa Ttama.
Omubaka wa Makindye East, Nyeko Derrick n’omubaka wa Nakawa Eng Nsubuga Balimwezo bagamba nti nga bo ababaka ba paalamenti baagala ennimi za kuno zisosowazibwe nga bwekyali edda mu masomero kwossa n’Enkiiko ez’enjawulo bazitessezzeemu.
Omuteesiteesi omukulu w’Empaka zino era Sipiika wa kkanso y’e Nakawa Godfrey Luyombya agamba zakubaawo buli mwaka okutumbula olulimi Oluganda era enteekateeka zino agenda nakuzitwala mu masomero.
Omuwanguzi abadde Ssekito Alex ng’ono avudde mu batunzi ba Nnyaannya naasitukira mu Ngabo nekimmeme w’Embuzi kwossa n’Ensimbi n’ebirabo ebirala nga bino bimukwasiddwa omuyimbi nakinku Kabuye Ssemboga.









