
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire n’Okukunga abantu ba Kabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke akuutidde abantu ba Kabaka okubeera abayiiya bwebaba baagala okugenda mu maaso.
Okwogera bino, Owek. Kitooke abadde atikkula Oluwalo kulwa Kamalabyonna okuva mu Bannabuddu okuva mu ggombolola okuli Mutuba XV Kirumba, Mutuba XXI ne Mutuba XXII abakiise Embuga nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Ppookino Sheikh Swaib Bwanika Kasonso.
Owek. Kazibwe bano abasabye bulijjo okunyweza ensonga z’omulembe omuggya eziri mu Nnamutaayiika okusobola okuzza Buganda ku ntikko nga muno mulimu okukola n’okwagala, obunyiikivu awamu n’obwerufu okusobola okulaakulana.
Minisita Kazibwe agamba nti okuva edda Buddu emanyiddwa olw’obuyiiya nga obubazzi, okukomaga embugo, okulima obutiko nebirala naabasaba okukuuma omumuli guno.
Ye minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Bannabuddu olw’okujja mubungi okukiika embuga bwatyo naabakuutira bulijjo okujjanga n’abaana abato basobole okumanya emirimu gy’Embuga bwegitambula.

Owek. Kawuki abakuutidde bulijjo okwekiririzaamu kuba kino kyekibafudde abenkizo ku bantu abalala abafeebya ebitundu gyebava.
Akulembeddemu Bannabuddu kulwa Ppookino, Sheikh Swaib Bwanika Kasonso yeebaziiza Ssaabasajja olw’okubazimbira eddwaliro e Mukungwe ssaako nebidduka ebyaweebwa Abaami ba Beene ku magombolola okusobola okwanguya emirimu.
Omubaka wa Bukomansimbi North, Dr. Ndiwalana Christine Nandagire yeebazizza Obwakabaka olw’ enteekateeka y’Emmwaanyi Terimba eyambye abantu be Buddu okulwanyisa obwavu.
Oluwalo oluleeteddwa lukwata mu nsimbi eziwera obukadde 14 n’omusobyo era omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo.









