
Bya Ssemakula John
Kawanda – Kyaddondo
Minisita wa Buganda, ow’eby’amawulire okukunga abantu era Omwogezi w’obwakabaka Owek. Israel Kazibwe kitooke asabye abantu okuteeka Katonda mu nteekateeka zabwe ez’enjawulo bwebaba baagala okwanguyirwa obulamu.
Owek. Kazibwe agamba nti kino kijja kubayamba okuwangula era basobole okutuuka ku Bwakabaka obwomuggulu.
Okwogera bwati, Minisita Kazibwe abadde yeetabye ku mukolo gw’okujaguza ng’ekigo kye Kawanda bweziwezezza omwaka mulamba bukya kyetongola okuva ku kya Jjinja Karooli.
Era Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abavubuka okwettanira obuweereza mu kkanisa bave mu mize egitajja kubanga omulembe guno ssabasajja Kabaka yagukwasa bavubuka.
Omukolo guno gwatandise nekitambiro ky’ emmisa ekyakulembeddwamu, Omusumba w’Essaza ly’e Lugazi Bishop Mathias Ssekamanya.

Omusumba Ssekamanya asinzidde wano akubirizza abafumbo nga bulijjo okwekwata ku Mukama katonda bave mu kweraguza basobole okuyingira obwakabaka bwa katonda.
Abakulisitu n’abakulembeze ab’enjawulo nga bakulembeddwamu Robert Ssewava balambuludde ku bituukiddwako mu mwaka ogumu gwebamaze nga beetongodde.
Ku mukolo gwegumu kubaddeko okugatta abagole nga gwetabiddwako abantu ab’enjawulo ku mitendera egitali gimu.