
Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Minisita w’ Amawulire n’ Okukunga, Israel Kazibwe Kitooke asabye abalungamya b’emikolo okwewala bannabyabufuzi abagootaanya entambuza y’emikolo gy’okwanjula nga baagala okuyisaawo ebyabwe.
Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, okwogera bino abadde aggalawo ttabamiruka w’abalungamya b’emikolo aggalawo omwaka ayindidde mu bimuli bya Bulange emisana ga leero.
Mu byakoonyeko kuliko; okukomya okutembeeta abazze okwanjulwa abaleeta ebifaananyi bya bannabyabufuzi nga ba byenkanyankanya n’ebya Ssaabasajja Kabaka nti kino kikyamu era kinafuya Nnamulondo, ebifaananyi byokka ebiva embuga ebirina okutwalibwa ku buko ky’ekya Ssaabasajja, Nnaabagereka, maapu, satifikeeti ya Taata, ey’abaana, n’ebbaluwa entongole.

Owek. Kazibwe abakubirizza okukomya okuwaanawaana abo abeeyita abagagga nga babasoloozaamu ensimbi era kino abasabye kikome kubanga kittattana ekitiibwa ky’omukolo.
Ono era asabye abalungamya okuzza obuggya endagamuntu zaabwe ezaabawebwa Obwakabaka era n’akubiriza naabo abatannaba kwewandiisa bakikole mu bwangu ddala basobole okutambulira awamu mu nteekateekaz’Obwakabaka.
Abakuutidde okunyikira okubuulira abantu amawulire agafa mu bwakabaka naddala ag’enkulaakulana nga, okulima emmwanyi, okwettanira obwegassi n’ensiisira z’ebyobulamu.
Ssentebe w’abalungamya, Isma Kajja, aloopedde Minisita Kazibwe ebyo byebasobodde okutuukako omwaka guno okugeza; okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, okubangulwa mu misomo egy’enjawulo era abalungamya 23 ba bangulwa ku Buganda Royal Institute mu kwogera eri abantu n’ebirala.
Ono annyonnyodde nti ensonga ya bakatumwa ekoleddwako era bassaawo ekitabo mwebawandiikibwa basobole okubalondoola obulungi ku ntambuza y’emirimu gyabwe.
Abalungamya ab’enjawulo baweereddwa satifikeeti ezibasiima olw’obuweereza obulungi n’obuwulize eri Nnamulondo.









