
Bya Gerald Mulindwa
Myanzi – Ssingo
Minisita wa Kabaka owa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, atabukidde Gavumenti nagisaba ekome ku basajja baayo mu by’ okwerinda abasusse okutulugunya bannansi.
Owek. Kawuki agamba ekitongole bye byokwerinda buli lukya byongera okukaabya bannansi naye ate abakulembeze balemeddwa okubaako kyebakola okukomya emize gino.
Obubaka buno, Minisita Kawuki abuweeredde ku kyalo Luswa mu ggombolola Mutuba Musanvu Myanzi e Ssingo mu Kassanda ku kabaga k’amatikkira ga Ssabwe Enock, eyali omuyizi we eyakugguse mu mawulire okuva Buganda Royal Institute nga abadde ku sikaala ya Kabaka Education Fund.

Minisita Kawuki era ajjukizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka obutagezaako kukkiriza bantu beefunyiridde okunafuya n’okusaanyawo obwakabaka nga bayita mu ngeri ezenjawulo naabakunga babalwanyise.
Omwami w’Eggombolola Mutuba VII Myanzi, Kayuki Tayibu, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’obujjanjabi bwe baafunye mu lusiisira lw’ebyobulamu olw’abadde mu Ssaza Ssingo ku tandikwa ya Ssabiiti eno kyokka n’ekirabo ky’e ddwaliro erigenda okuggulwawo omwezi ogujja.

Omugole Ssande Enock yeebazizza Obwakabaka olw’ okumuwa omukisa naasoma bwatyo naasaba abaana n’ abazadde bulijjo okwettanira enteekateeka z’ Obwakabaka.