
Bya Ssemakuala John
Busimbi – Ssingo
Minisita w’ Obwakabaka avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’ebitundu, Abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru awamu n’Entambula za Nnyinimu, Owek. Joseph Kawuki atenderezza obukugu n’omutindo ebyoleseddwa mukuzimba eddwaliro ly’ Obwakabaka ku kitebe ky’ essaza e Busimbi mu Ssingo.
Omulimu guno, Owek. Kawuki agulambudde leero ku Lwokuna nasanyukira wegutuuse olw’okutambula obulungi ate nga gutambulira ku sipiidi.
Minisita Kawuki yeewunyizza okulaba nti omulimu guno gumaze emyezi esatu gyokka bukya gutandika kyokka neguba nga kati guli ku ddaala lya kusereka nagamba nti kizzaamu amaanyi kubanga emirimu mingi gitandikibwa kyokka negitambula kasoobo.
Owek. Kawuki yeebazizza bannasingo olw’okufaayo okulondoola omulimu guno, naabasaba okwongera okuwuwagira gusobole okuggwa mu budde olwo gutandike okujjanjaba abantu ba Beene.

Owek. Kawuki era asinzidde wano neyeebaza Ssentebe w’omulimu guno, Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa olw’okulambika obulungi enteekateeka eno.
Ono era yebazizza n’akulira abakozi mu Bwakabaka bwa Buganda era nga yalabirira omulimu guno, Josephine Nantege olw’okukola n’obuvumu ate n’obwerufu.
Mu ngeri yeemu yebazizza Mukwenda n’abakulembeze ab’enjawulo olwa byonna byebakola kulw’omulimu guno. Minisita yebazizza abakozi ab’oludda olw’ekikugu n’abazimbi lw’okukola ekisoboka okulaba nti omulimu guno gutambula gutuuka weguli.

Kinajjukirwa nti Ssaabasajja yasiima amalwaliro agali ku mutendera gw’okuna ‘Health Centre IV’ gazimbibwe mu masaza ge gonna ng’enteekateeka eno yatandikira mu masaza okuli Ssingo, Buddu ne Kyagwe era nasiima gabbulwe mu Ssekabaka Mutesa II.