Musasi waffe
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunaanyizibwa ku nsonga za Buganda Ebweru, Oweek. Joseph Kawuki asisinkanye omukungu Ola Hällgren; akulira ensonga z’okwekulaakulanya (Head of Development Cooperation) ku kitebe kya Sweden mu Uganda. Mu nsisinkano eno, ababiri bogedde ku butya Obwakabaka bwe busobola okuganyulwa mu nteekateeka z’okwekulaakulanya eza (Swedish International Development Agency – Sida). Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka e Sweden, Owek. Nelson Mugenyi ye yakulembeddemu olusisinkano luno.