
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu wamu n’Entambula za Kabaka, Owek. Joseph Kawuki asabye abavubuka abadduka mu byalo nebasenga mu bibuga wamu nokugenda ku kyeyo okusigala nga benyigira mu kulima ku ttaka lye balekayo basobole okulikuuma.
Okusaba kuno Owek. Kawuki akutadde mu bubaka bwatisse Ronald Kalungi okuva mu woofiisi ye ng’ asiima emirimu egikoleddwa Owek. Sam Ssekajugo naddala mu kisaawe ky’ebyobulimi.
Minisita Kawuki annyonnyodde nti wadde omuntu tabeera ku kyalo asobola okusigala nga akozesa ettaka eririyo okufunamu ensimbi nga Owek. Sam Ssekajugo bwakoze naasaba abavubuka okumulabirako.
Ye Owek. Sam Ssekajugo ategeezezza nti wadde tawangaalira kuno naye yasalawo okutandikawo olusuku lw’ebitooke nekigendererwa okulaga abavubuka nti tolina kubeera ku ttaka okulikolerako.

Ssekajugo agamba yasalawo okwenyigira mukulima amatooke kubanga ennaku zino akatale wekali mu ggwanga n’ ebweru we ggwanga nga kyekintu omuntu kyasobola okwenyigiramu nafunamu ensimbi.
Omukolo guno gwategekeddwa mu ggombolola ye Kyampisi awali olusuku luno okulaga abavubuka bwebasobola okukyuusa obulamu bwabwe nga bayita mu kulima.
Guno gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya, Owek. Christine Nabukenya nabakungu abalala bangi okuva mu ssaza lye Kyaggwe.
Luno lwe lusuka lwa mwami wa Kabaka Sam Ssekajugo amukulembererako e Ssaza lya Rhinelands olusangibwa ku kyalo Kyabakadde mu ggombolola lye Kyampisi Mituba III e Kyaggwe mu district lye Mukono nga lyalutandikawo okusobola okuyigiriza abavubuka nti mukulima omuntu asobola okufunamu ensimbi.