Bya Musasi waffe
Amagombolola ge Kyaddondo ne Buweekula galeese oluwalo lwa Bukadde
Gombolola ya Mutuba III Makindye (Kyaddondo) n’amalala okuva e Buweekula bakiise embuga nebaleeta oluwalo okwongera okuwagira emirimu gy’obwakabaka. Minisita omubeezi ow’eby’obulimi n’obwegassi, Hajji Amis Kakomo yabatikkudde kulwa Katikkiro. Yeebazizza abantu ba Kabaka okujjumbira enkola ya Luwalo Lwaffe ekibayambye okumanya ebifa embuga wamu ne Mmengo neemanya biki ebifa mu bitundu gyebabeera. Owek. Kakomo yeebazizza abaami b’amagombolola olw’okukolagana obulungi n’abakulembeze ku buli mutendera, bannaddiini, n’aba gavumenti ya wakati.
Mu ngeri yeemu, abakubirizza okukola ennyo basobole okufuna ensimbi z’okujjanjaba, wamu n’okusomesa abaana.
Abasabye banyiikire okulima emmwanyi bafune ensimbi ezibabeezaawo.
Wammanga yengeri amagombolola gyegakozeemu
Kyaddondo Mutuba III Makindye 28,185,000
BuweekulaMutuba I Kitenga 1,680,000
Mumyuka Bagezza 210,000
Ssaabaddu Butoloogo 300,000
Ssaabagabo Kasambya 1,015,000
Musaale Kiyuni 750,000.
Zonna wamu omugatte gwabadde, 32,140,000.