
Bya Ssemakula John
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusuubuzi n’Obuvubi mu Bwakabaka, Owek. Hajji Hamis Kakomo akuutidde abakulembeze mu bibiina by’obwegassi okukulembeza obwerufu mu buli kyebakola okusobola okulaakulana.
Obubaka buno, Owek. Kakomo abuweeredde mu kulambula alambula ebibiina by’obwegassi mu Bwakabaka okubadde Kyaddondo CBS Pewosa, Ssuubiryo Zambogo SACCO ne CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekera ku Lwokubiri.
Owek.Kakomo asookedde ku kitebe ky’ekitavvu ki CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekera nga ab’eno abafalaasidde okukolera awamu mu mazima nobwesimbu okutuusa obuweereza obulungi ku bantu ba Kabaka.
Ssentebe wa CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekera Owek.Bbaale Mugera, agambye nti enkola ya Pewosa eyambye ebibiina by’obwegassi okwewala ebizibu ebireetebwa amabanja ga banka nga mu kiseera kino ebibiina bino birina obusobozi okweyimirizaawo awatali kwewola mu bbanka.

Akulira CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekera Florence Luwedde ategeezezza nti ng’oggyeeko okussa omuzinzi mu kwagazisa abantu obwegassi baasalawo okukyuusa embeera z’abavuvuka nga bayita mu kubayigiriza emirimu gy’emikono okwongera ku nnyingiza.
Oluvannyuma Minisita Kakomo atuuseeko ku Ssuubiryo Zambogo SACCO era eno Ssenkulu w’ ekitongole kino Benon Kivumbi amwanjulidde ebimu ku byebasobodde okutuukako.
Ye Ssentebe wa Bboodi ya Ssuubiryo Zambogo SACCO Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu ategeezeza nti bafubye okwagazisa abavubuka okwettanira obwegassi n’okubangula abantu ba Beene ku bukulu bw’okutereka era kati bangi embeera zaabwe zikyuse.

Mungeri yeemu Owek. Kakomo atuuse ku Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO era abaddukanya ekibiina kino abasabye okwekwata Tekinologiya n’obwerufu okusobola okutuusa empeereza egwanidde ku bantu ba Beene.
Ssentebe wa Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO era Ssenkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mweebe agamba nti Pewosa ereese enkulaakulana yamaanyi mu bantu ba Kabaka era baakuggulawo amatabi ga CBS PEWOSA mu masaza amalala okwongera okutuusa enkola y’obwegassi ku bantu ba Beene.
Okusinziira ku Minisita Kakomo kino kikoleddwa okulondoola emirimu okulaba bwegikolebwa kiyambeko ebibiina bino okwongera okuyitimuka n’okuggusa ekyabitandisaawo.