
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu, Ebyenjigiriza, Ebyobulamu n’Ensonga za Woofisi ya Nnaabagereka, Owek.Dr. Cotilda Nakate Kikomeko asabye abantu okutwala ebyobulamu nga ekikulu nga bafaayo okulya obulungi, okwekuuma nga bayonjo olwo basobole okubeera abalamu.
Owek. Nakate Kikomeko bino abyogeredde mu kulambula kw’abaddeko mu malwaliro, Ssaabasajja Kabaka geyazimbira abantu be e Bulemeezi ne Busiro ku Lwokusatu.

Minisita Nakate asinzidde wano nasaba abantu okusoosowaza ebyobulamu basobole okuba abalamu bakole beekulaakulannye olwo ne Buganda edde ku ntikko.
Ye Omwami w’eggombolola Ssaabagabo Nsangi, Wasswa Mathias yeebaziza Ssaabasajja olw’okubazimbira eddwaaliro era agamba nti lyakuyamba nnyo ekitundu kuba abantu babadde bafuna obuzibu okufuna obujjanjabi.
Omu ku bannamikago mu nteekateeka eno, Dr Stephane Grace Sseruyange okuva ku International Paramedical and Nursing school e Maya, ategeezeza nti bakukolaganira wamu n’Obwakbaka okulaba nga abantu ba Beene bafunira ddala obujjanjabi bwebeetaaga nga ayita mu kuwaayo abasawo abakugu nokubabangula.

Oluvannyuma Owek.Nakate ayolekedde e Bulemeezi mu gombolola ya Mutuba IV Buwulukusi Makulubita nayo okulambala eddwaliro lya Muteesa II Health Center IV eryazimbibwa Beene okulaba emirimu bwegitandise
Minisita eno asabye abazadde bulijjo okufuba okuweerera abaana bakuguke mu bukugu obwenjawulo kibayambe okuba nebiseera byomu maaso ebitangavu.