Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ssaabawolereza era minisita wa Buganda owa gavumenti ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika asabye abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana babwe ku lw’ ebiseera bya Buganda eby’omu maaso.
Okusaba kuno, Ssaabawolereza Christopher Bwanika akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo olusobye mu bukadde 8 okuva mu bantu ba Kabaka okuva e Buluuli ne Kyaddondo ku Lwokubiri.
Owek. Bwanika bano abakubye akaama okutwala ebyobulamu nga ekikulu beekume nga balamu basobole okukola bekulaakulanye.
Ono era yeebazizza abaleese oluwalo olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo era nabasaba bulijjo okujjumbira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo ezireetebwa okuyimusa embeera zabwe.
Oluwalo luno luvudde mu ggombolola satu okuva e Buluuli okusobola okuyambako Obwakabaka ku nzirukanya y’emirimu nokutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.
Omumyuka Asooka owa Kimbugwe, Esther Ssebyala Nakyeyune alambuludde ebimu ku bisoomozo byebasingaana e Buluuli wabula nawera okusigala nga baweereza Beene awatali kumutiirira.
Obwakabaka buzze bukubiriza abantu ba Kabaka okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu miti emito era okuteeka ekiragiro kino mu nkola banna Kyaddondo bakiikiriddwa abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo agali mu kitundu kino.