• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Minisita atiisizza okulekulira lwa nneeyisa ya Ssaabaminisita Nabbanja

Gambuuze by Gambuuze
November 2, 2021
in Eby'obufuzi
0 0
0
Minisita atiisizza okulekulira lwa nneeyisa ya Ssaabaminisita Nabbanja
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisita w’ebibamba n’ebigwa tebiraze awamu n’abanoonyi b’obubudamo, Hillary Onek atiisizatiisizza nga bw’ayinza okulekulira olw’engeri Ssaabaminisita Robinah Nabbanja gy’akolamu emirimu.

Mu bbaluwa gye twasobodde okufunako kkopi nga yawandiikiddwa nga 29, October 2021, Minisita Onek agamba nti  atandise okulowooza ku ky’okulekulira omulimu gwe kuba Ssaabaminisita Nabbanja atutte obuvunaanyizibwa bwe bwonna.

Onek annyonnyodde nti awulira enyiike okulaba Nabbanja ng’akola emirimu egyandibadde egigye.

“Okuva lwe walondebwa ku bwa Ssaabaminisita, nkwekennenyezza naye amazima gali nti  woofiisi yo yatutte obuvunaanyizibwa bwange nga Minisita w’ebigwa tebiraze awamu n’abamyuka bange.” Onek bwe yategeezezza ng’ayita mu bbaluwa.

Onek annyonnyodde nti okuva Nabbanja lwe yalondebwa abadde ayita enkung’aana awamu n’okugenda mu bifo awali abakoseddwa nga tategeezezza woofiisi ye wadde abamyuka be.

Ono annyonnyola nti ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nga ate abakozi abali wansi wa Minisita bakiika butereevu mu nkiiko zino ate nga si baminisita.

Onek agamba nti ne woofiisi yeddizza woofiisi egabira abantu ebintu era ng’abakozi mu woofiisi eno kati ebintu bamala gabigaba awatali kugoberera mitendera awatali kunoonyereza na kwekenneenya.

Ono alumiriza Ssaabaminisita okuyimiriza okusenza abanoonyi b’obubudamu ekya Kyangwali olw’enkaayana  awatali kumwebuuzaako nga Minisita akwatibwako.

Kinajjukirwa nti obutakkaanya bwa bano bwava ku Ssaabaminisita Nabbanja okukyusa obuwumbi 5 ku obwo 15 obwalina okuweebwa Minisitule y’ebigwa tebiraze ku ntandikwa y’omwaka guno.

Ensonga eno yalanda n’etuuka ne mu Palamenti okunoonyerezebwako.

Wano ababaka abatuula ku kakiiko k’embalirira baabuuza Ssaabaminisita Nabbanja ensonga lwaki Ssente zino yazikyusa nga ate zaali za Minisitule ya Onek, n’agamba nti waliwo emirimu gye yalina okukola ku bantu abakosebwa nga gyetaaga ssente.

Onek yategeezezza nti akoze ne ba Ssaabaminisita abawera basatu naye embeera eno ebadde tebeerawo kuba babadde bamanyi obuvunaanyizibwa bwabwe obubaweebwa Ssemateeka.

Nabbanja amwanukudde

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire wabweru wa Palamenti, Ssaabaminisita Nabbanja agambye nti ebbaluwa eno tannagifuna mu woofiisi ye wabula naye agirabye ku mitimbagano.

Nabbanja annyonnyodde nti yayogererawo nga yaakalayira nti tagenda kukkiriza nkola ya mirimu eya Ssemugayaavu nga ne bino Minisita Onek byakoze tebigenda kumutiisatiisa kuva ku mulamwa kuba ye aliwo kukolera bantu era n’enkola y’emirimu yakyuseemu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.