
Bya Ssemakula John
Luweero – Bulemeezi
Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda era avunaanyizibwa ku ntambula z’Omutanda n’abantu be ab’ebweru, Owek. Joseph Kawuki asabye ekitongole kya Buganda Land Board okukolagana obulungi n’abaami ba Ssaabasajja Kabaka abakulembera amasaza okuli Bulemeezi ne Buluuli, kiyambe okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Okusaba kuno Minisita Kawuki yakukoledde Luweero ku Luweero Diocese Guest House awaategekeddwa omusomo gw’okubangula abaami abaggya mu ssaza ly’e Bulemeezi ku Lwokusatu.
Mu ngeri y’emu Minisita yasabye abaami bano okwenyigira mu nteekateeka za Ssaabasajja Kabaka omuli emisinde ssaako n’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya, Emmwanyi Terimba awamu n’okugaba omusaayi, kiyambeko okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga.
Bano Minisita abasabye okubeera abagumu ku kusomooza okw’ enjawulo kwebasanga kuba bino byonna bisobola okuwangulwa nga Buganda eri wamu .
Omwami ow’essaza Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo yasanyukidde omusomo guno n’ategeeza nti nga bo tegugenda kubaleka kye kimu mu nzirukanya y’emirimu n’awera nti singa Obwakabaka butambulira wano, kijja kuba kyangu Buganda okudda ku ntikko.
Akulira ekitongole kya Buganda Land Board (BLB), Omukungu Kaboggoza Simon yasabye abaami b’amagombolola okuddayo basomese abantu ba Beene ku byalo amateeka agakwata ku ttaka era n’obuvunaanyizibwa bwabwe we bukoma ku nsonga eno.









