Bya Musasi Waffe
Kampala
Ebiva mu kamyufu k’ekibiina ki Nationa Resistance Movement (NRM) biraga nga ebimu ku bikonge ne baminisita akamyufu bwekakyabalemye okuggyamu ekiramu nga buli ssaawa kaadi y’ekibiina eyongera okubava mu ngalo.

Ebikyavudde e Bushenyi biraga nga Minisita owa guno naguli Mary Karooro Okurut, bwayolekedde okuwangulwa Annet Katusiime Mugisha. Ono yawangudde mu ggombolola zonna ezikola Konsitutyensi eno okuli; Kyabugimbi, Kyeizooba, Bumbaire ne Bitooma.
Mu Sheema, Minisita wa sayansi Dr. Elioda Tumwesigye akyasanze akaseera akazibu okuwangula eyali omukozi wa Uganda Revenue Authority (URA)Dicko Kateshumbwa, ku kifo ky’omubaka wa Munisipaali ye Sheema.
E koboko Dr. Charles Ayume akyakulembedde Minisita Evelyn Anite wadde nga akalulu kakyali kazibu okusalawo ani akatwala.
Ku bifo ebironderwamu 36 ebibadde byakabalibwa Ayume abadde alina obululu 5,988 ate Anite nga alina 4,917.
Mukitundu kye Kazo Minisita alondoola ebyenfuna Molly Kamukama, abadde akyakwebedde emabega wa Jennifer Muheesi.
Bannakibiina ki NRM olwaleero bakedde mu Kamyufu nga poliisi yakamala okulabula ku mivuyo egiyinza okubeera mu bitundu nga Sheema, Sembabule, Koboko ne disitulikiti 12 endala.
Ebifo ebirala poliisi byeyanokoddeyo kuliko; Kassanda, Kazo, Bundibugyo, Sironko, Mbale, Hoima, Koboko, Adjumani, Kashongi, Kampala, Wakiso ne Hoima.
Wabula akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM yategeezezza nga okulonda bwekukyatambudde obulungi mubitundu ebisinga.