Musasi waffe
Minisita mu gavumenti yawakati avunanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu, Jennifer Namuyangu agambye nti tebalina ssente zajjenjeelo zaakuwa babaka ba palementi okusobola okuyisa ekiteeso ekissaawo ebibuga ebipya. Nga ayogerako ne leediyo ya CBS mukanyomero akabeera mumawulire g’essawa essatu akamanyiddwa nga, ‘Nze nga bwendaba,’ Namuyangu yagambye nti kyamwewunyisizza nnyo nti ababaka ba palamenti wiiki ewedde b’epena okuyisa ekiteeso kino olw’omuwendo gwabwe obutawera. Mu lukiiko olwali lukubirizibwa omumyuka wa sipiika, Jacob Oulanyah, omuwendo ogwe ssalira okuyisa ekiteeso kino ogwa babaka 231, gwagaana okuwera ekyawaliriza Oulanyah okuyimiriza olutula katono, asobozese abakunga ababaka mu bibiina ebyenjawulo okuyita abantu baabwe. Wabula ekyamumala enviiri ku mutwe, olutuula bwerwaddamu, n’abatono abaaliwo nabo tabaakomawo ekyaviirako okusattulula olukiiko ppaka wiiki eno. “Luli twali tutambula okulwanyisa enguzi ate kati tudde mu nguzi, ababaka babasasula okukola omulimu ogwo. Abantu baagala ebibuga, ate ggwe newebulankanya. Naye newetwandibadde n’essente, ziba zisobola okukola ebintu ebirala,” Namuyangu bweyagambye. Yagasseeko nti bagenda kukola ekisoboka okukunga ababaka bano baggye balonde kubanga ebibuga Bannayuganda babyagala. “Tugenda baweereza obubaka, wamu n’okubakubira amasimu. Buli kitundu kya ggwanga kirina ekibuga kyekigenda okufuna kati tugenda na kuyitira mu bitundu ebyo, Buganda ekunge abaayo, Acholi ekunge abaayo, Lango ekunge abaayo. Tugenda kukozesa buli kimu ekisoboka kubanga ebibuga ebimu biri mu kutekateeka mbalirira yaabyo kubanga birina okutandika mu July [Kasambula]nga 1 2020 kati wetuba tuluddewo kiyinza okuleeta obuzibu,” Namuyangu bweyagambye. Wabula yalabudde nti singa bino byonna binagaana, ekiteeso kino bajja kukiggya muddiiro. “Bwekinaagaana nga tukireka nga tutambula ne Kampala yokka nabo [ababaka] bagende mu bitabo nti baalemesa ebibuga. Mu 2021 babuulire abantu lwaki baalemesa ebibuga byabwe,” Namuyangu bweyagambye. Gyebuvuddeko, olukiiko lwa baminisita giyite kabineeti, lwayisa ekiteeso ekiteekawo ebibuga 10 nga bino mulimu, Fort Portal, Mbarara, Hoima, Entebbe, Masaka, Lira, Arua, Gulu, Mbale ne Jinja .