Bya Ssemakula John
Kampala
Eyavuganyizza ku ntebe y’Obwapulezidenti mu kalulu ka 2021 Willy Mayambala, awandiikidde kkooti Ensukkulumu ng’awakanya ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu okuggyayo omusango guno era bw’atyo, n’asaba akkirizibwe okweddiza omusango guno.

Kyagulanyi ku Lwokusatu yawandiikidde kkooti Ensukkulumu mu butongole ng’aggyayo omusango olw’ebigambibwa nti abalamuzi abalina okuwulira omusango gwe baalina kyekubiira.
Ebintu enkya ya leero bikyuse, Willy Mayambala bw’andikidde kkooti ebbaluwa ng’agitegeeza nga bw’ayagala kkooti emuyise mu mitendera gy’alina okugoberera okusobola okweddiza omusango guno era oba kisoboka okuleeta obujulizi obupya mu musango guno.
“Njagala okukakasa nti nze nga Willy Mayambala eyavuganyaako ku bwapulezidenti kwatibwako ku musango guno era njagala okumanyisibwa ku kye nnina okukola okutwala omusango guno.” Mayambala bw’asabye.
Bwe yabadde asaba okuggyayo omusango guno, Kyagulanyi yagambye nti yaguggyeeyo kubanga embeera kkooti gy’esizzaawo tesobozesa musango gwe kuwulirwa mu bwenkanya.
“Abajulizi b’omuwaabi baakwatibwa ne batulugunyizbwa wamu n’okutiisibwatiisibwa ab’ebyokwerinda ku biragiro bya bawawaabirwa okuli Museveni ne Ssaabawolereza wa gavumenti. Ebitongole okuli; poliiisi ne NIRA bikozesebwa okuketta abawagizi b’omuwaabi n’okubamalako eddembe lyabwe.” Okusaba kwa Kyagulanyi bwe kw’alambise.
Kyagulanyi eyakwata ekyokubiri mu kalulu ka January 14, agamba nti amateeka agafuga omusango gw’okulondebwa kwa Pulezidenti gateekeddwa mu nkola mu ngeri emunyigiriza olw’ensonga y’obudde era nga kkooti kino kye yeekwasa okumugaana okwongera ku bujulizi bw’alina.
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, eggulo yategeezezza nti kkooti egenda kutuula mu bwangu okusalawo ku kusaba kwa Kyagulanyi era ono yasabiddwa asooke ayite mu mitendera okuli n’okufulumya okusaba kwe mu kyapa kya gavumenti.
Akawaayiro nnamba 61 ak’etteeka erirung’amya okulonda kwa Pulezidenti erya 2005, ligamba nti omusango tegusobola kuggyibwayo okuggyako nga kkooti ekkiriza oluvannyuma lw’okugutunulamu. “Oluvannyuma lw’okuwulira okusaba kw’okuggyayo omusango, eyavuganya yenna ng’asobola okufuuka omuwaabi waagwo, asobola okusaba kkooti n’adda mu kifo ky’omuwaabi ayagala okuggyayo omusango guno.” Bwerityo etteeka lino bwe lirambika.