Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Akakiiko akategeka empaka z’Amasaza kakakasizza nga buli kimu bwekiwedde amasaza okulwanira obwa Nnantameggwa bw’omwaka guno.
Kano mu lukiiko lwa bannamawulire lwekakubye e Bulange e Mmengo ku Mmande lutegeezezza nga omupiira oguggulawo bwegugenda okuzannyibwa ttiimu ekiri mu kibinja Bulange wakati wa Bulemeezi ne Buluuli e Kasana ku kisaawe ku Ssande nga 22, June 2024.
Bulemeezi ejja mu mupiira guno nga yalina ekikopo oluvannyuma lw’okuwangula Gomba ggoolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku bwetyo neetwala ekikopo ky’omwaka 2023.
Mu kaweefube w’okugezaako okwezza ekikopo kino aba Bulemeezi baleese omutendesi Paul Nkata okudda mu bigere bya Ibrahim Kirya okulaba nti bavuganya bulungi omulundi guno.
Bulemeezi eri mu kibinja Bulange omuli ; Buddu, Kyadondo, Buluuli, Butambala ne Bugerere. Ekikopo kino bakiwangudde emirundi esatu miramba 2012, 2019 ne 2023.
Buluuli mukiseera kino etendekebwa eyali omuzannyi wa Uganda Cranes Anthony Bongole era bano bajja mu mupiira guno nga banoonya obuwanguzi bwabwe okuzza ku kyebawangula mu 2011.
Ebibinja nga bwebiyimiridde
Bulange
Bulemeezi
Buddu
Kyadondo
Buluuli
Butambala
Bugerere
•Masengere
Mawokota
Buvuma
Kabula
Busujju
Ssese
Busiro
•Muganzirwaza
Gomba
Ssingo
Kyaggwe
Buwekula
Kooki
Mawogola
Abazze bawangula
2023 – Bulemeezi
2022 – Busiro
2021 – Buddu
2020 – Gomba
2019 – Bulemeezi
2018 – Ssingo
2017 – Gomba
2016 – Buddu
2015 – Singo
2014 – Gomba
2013 – Mawokota
2012– Bulemeezi
2011– Buluuli
2010– Not Held
2009– Gomba
2008– Kyadondo
2007– Mawokota
2006– Kooki
2005- Mawokota
2004- Gomba