Bya Musasi Waffe
Kayunga
Akawatidde ekibiina kya Democratic Party omumuli ku bwapulezidenti bwa Uganda mu kalulu ka 2021, Nobert Mao, asuubizza okugoba ekibbattaka mu bitundu by’e Kayunga singa anaalondebwa ku bwapulezidenti.

“Tulina enteekateeka y’okulaba nti mweddiza ettaka lyammwe eribanyagiddwako, tugenda kuteekawo obukiiko bw’abalamuzi obunaatunula mu nsonga z’ettaka era bwe kinaazuulibwa nti kituufu ettaka lino liryo nga likuddira, ettaka libeera lya bannyini lyo, ettaka lye Kayunga lya bannakayunga,” Mao bwe yagambye ng’anoonya akalulu mu kitundu kino eggulo ku Lwomukaaga.
Mao wano era we yayanjulidde akutte bbendera ku kifo ky’omubaka omukyala Lydia Wabuza era n’asuubiza okukola ku bizibu ebyenjawulo bye basanga omuli amalwaliro n’ebyenjigiriza ebibi.
Abamu ku batuuze okuli John Ssentamu ne Peter Kiryowa, baasuubizza Mao obuwagizi era ne bamusaba bw’atuuka mu ntebe atandikire ku kizibu ky’amazzi amayonjo wamu n’okutereeza enguudo zaabwe okulaba nti zibanguyiza okutuusa ebirime byabwe ku katale.
Mao wadde yabadde alina okunoonya akalulu e Mukono ne Buikwe, olwamaze okunoonya akalulu e Kayunga nayolekera ku butaka e Gulu okusobola okwetaba mu kuziika ow’oluganda lwe.








